OLUYIMBA 122
Ba Munywevu, Tosagaasagana!
-
1. Mu nsi emitawaana mingi nnyo;
N’abantu beeraliikirivu nnyo.
Ffe tuleme kusagaasagana.
Tuweereze Katonda.
(CHORUS)
Ffenna tube banywevu;
Ensi tugyesambenga.
Tunaasiimibwa mu
maaso ga Katonda.
-
2. Mu nsi eno ebikemo bingi.
Twekuume ’birowoozo ebibi.
Bwe tunaanywerera ku Katonda
Ajja kutuyinzisa.
(CHORUS)
Ffenna tube banywevu;
Ensi tugyesambenga.
Tunaasiimibwa mu
maaso ga Katonda.
-
3. Tufube ’kuweereza Katonda;
Tukikole n’omutima gwonna.
Enjiri ka tugibuulirenga.
Enkomerero ejja.
(CHORUS)
Ffenna tube banywevu;
Ensi tugyesambenga.
Tunaasiimibwa mu
maaso ga Katonda.
(Laba ne Luk. 21:9; 1 Peet. 4:7.)