OLUYIMBA 133
Weereza Yakuwa Ng’Okyali Muvubuka
-
1. Abato Katonda ’twagala nnyo.
Ebirungi by’atuwa bya nsusso!
Tumaliridd’o kumuweereza
N’obwesigwa emirembe gyonna.
-
2. ’Bazadde baffe batuwabula;
Tubawa ekitiibwa; tubeewa.
Ekyo kisanyusa nnyo Yakuwa.
Twongera okumusemberera.
-
3. Abato tujjukire Katonda,
Era twagale nnyo amazima.
Bwe tuneemalira ku Yakuwa
Kijja kumusanyusa nnyo ddala.
(Laba Zab. 71:17; Kung. 3:27; Bef. 6:1-3.)