Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 146

‘Ebintu Byonna Abizzizza Buggya’

‘Ebintu Byonna Abizzizza Buggya’

(Okubikkulirwa 21:1-5)

  1. 1. ’Bwakabaka bwa Katonda bufuga,

    Omwana we atudde ku ntebe.

    Awangudd’o lutalo mu ggulu,

    Ne ku nsi kinaaba kityo mangu.

    (CHORUS)

    Sanyuka kuba Katonda

    Anaabeeranga n’abantu.

    Obulumi tebulibeerawo,

    Era n’okufa tekulibaawo;

    Kuba byonna abizzizza buggya.

    ’Bigambo bya mazima.

  2. 2. Mulabe Yerusaalemi Ekiggya,

    Omugole w’Omwana gw’Endiga.

    Yenna kati anekaanekanye;

    Yakuwa yekka gwe musana gwe.

    (CHORUS)

    Sanyuka kuba Katonda

    Anaabeeranga n’abantu.

    Obulumi tebulibeerawo,

    Era n’okufa tekulibaawo;

    Kuba byonna abizzizza buggya.

    ’Bigambo bya mazima.

  3. 3. Ekibuga kino kisanyusa nnyo;

    Kiggule emisana n’ekiro.

    Mmwe abaweereza ba Katonda,

    ’Musana gwakyo mugwolekenga.

    (CHORUS)

    Sanyuka kuba Katonda

    Anaabeeranga n’abantu.

    Obulumi tebulibeerawo,

    Era n’okufa tekulibaawo;

    Kuba byonna abizzizza buggya.

    ’Bigambo bya mazima.