OLUYIMBA 148
Yakuwa Alokola
-
1. Yakuwa ye ggwe Katonda omulamu.
’Mirimu gyo mingi
ku nsi ne mu ggulu.
By’okoze ggwe teriiyo asobola
’bbikola.
Teri akwenkana.
(CHORUS)
Yakuwa alokola abeesigwa.
Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo.
N’obuvumu, n’okukkiriza,
tumutende
Nnyo Yakuwa; kuba ye
Mulokozi waffe.
-
2. Nneetooloddwa emiguwa egy’okufa;
Yakuwa mpa ’maanyi,
nnyamba nneme kutya.
Ng’oyima eyo gy’oli, ompulira.
Nnunula;
Ntaasa nze, Kitange.
(CHORUS)
Yakuwa alokola abeesigwa.
Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo.
N’obuvumu, n’okukkiriza,
tumutende
Nnyo Yakuwa; kuba ye
Mulokozi waffe.
-
3. Ng’oyima mu ggulu,
ojja kuboggola;
’Balabe bo batye,
ffe nga tujaganya.
Obeera ekyo kyonna ky’oyagala;
’Balala,
Bajja kukiraba.
(CHORUS)
Yakuwa alokola abeesigwa.
Tujja kukiraba nti ye wa maanyi nnyo.
N’obuvumu, n’okukkiriza,
tumutende
Nnyo Yakuwa; kuba ye
Mulokozi waffe.
(Laba ne Zab. 18:1, 2; 144:1, 2.)