Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 17

“Njagala”

“Njagala”

(Lukka 5:13)

  1. 1. ’Kwagala kwa Yesu kungi;

    Yakwoleka ng’ali ku nsi.

    Byonna bye yakola

    Byali bya kisa;

    Yalaga obusaasizi.

    Yalumirirwa ’banaku.

    Yayamba abawombeefu.

    Yayagala nnyo ’buweereza bwe

    Era yagamba: “Njagala.”

  2. 2. Tufuba okumukoppa

    Mw’ebyo byonna bye tukola.

    Tufaayo nnyo ddala

    Ku bantu bonna

    Abaagala amazima.

    Tetwerabira banaku

    N’abalina ebizibu.

    Kale ’nfuuzi bwe bakusaba ggwe,

    Baddengamu nti: “Njagala.”