OLUYIMBA 21
Kulembezanga Obwakabaka
-
1. Ekisanyusa Yakuwa,
Eky’omuwendo gy’ali,
Bwe Bwakabaka bwe obwo
’Bunaatereeza ensi.
(CHORUS)
Kulembez’o Bwakabaka
N’obutuukirivu bwe.
Mutenderezenga wonna;
Weereza n’obwesigwa.
-
2. Lwaki tweraliikirira
Eby’olunaku lw’enkya?
Bwe tusoos’o Bwakabaka
Yakuwa ’naabituwa.
(CHORUS)
Kulembez’o Bwakabaka
N’obutuukirivu bwe.
Mutenderezenga wonna;
Weereza n’obwesigwa.
-
3. Buulira Obwakabaka;
Yamba abantu basse
Obwesige mu Yakuwa
Era n’obufuzi bwe.
(CHORUS)
Kulembez’o Bwakabaka
N’obutuukirivu bwe.
Mutenderezenga wonna;
Weereza n’obwesigwa.
(Laba ne Zab. 27:14; Mat. 6:34; 10:11, 13; 1 Peet. 1:21.)