OLUYIMBA 29
Okutuukana n’Erinnya Lyaffe
-
1. Ai Yakuwa, ’muyinza wa byonna,
Ow’obwenkanya, ow’okwagala.
Ggwe wa mazima er’o w’amagezi,
Ggwe Mufuzi waggulu mu ggulu.
Tuli basanyufu ffe ng’abantu bo;
Tubuulira Obwakabaka bwo.
(CHORUS)
Ng’Abajulirwa bo tulin’e nkizo;
Tutuukanenga n’erinnya lyaffe.
-
2. ’Kukolera ’wamu mu buweereza
Kinyweza nnyo okwagala kwaffe.
’Kumanyisa ’mazima n’ettendo lyo
Kituleetera essanyu lingi.
Kitaffe, tuyitibwa erinnya lyo;
Tulin’o kuliwees’e kitiibwa.
(CHORUS)
Ng’Abajulirwa bo tulin’e nkizo;
Tutuukanenga n’erinnya lyaffe.
(Laba ne Ma. 32:4; Zab. 43:3; Dan. 2:20, 21.)