Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 4

“Yakuwa ye Musumba Wange”

“Yakuwa ye Musumba Wange”

(Zabbuli 23)

  1. 1. Yakuwa Musumba wange

    Era mmugoberera.

    Amanyi byonna bye nneetaaga;

    Amanyi bye njagala.

    Antegekera emmeeza

    Okuli ebirungi.

    Okwagala kwe kwa lubeerera.

    Nnin’e mirembe mingi.

    ’Kwagala kwe kwa lubeerera.

    Nnin’e mirembe mingi.

  2. 2. Amakubo go malungi;

    Go ga butuukirivu.

    Kyenva ngatambuliramu nze

    Nga ndi mumalirivu.

    Ne bwe mba mu kizikiza,

    Omuggo gwo guŋŋumya.

    Ggwe Mukwano gwange asingayo,

    Siityenga kabi konna.

    Ggwe Mukwano gwang’a singayo,

    Siityenga kabi konna.

  3. 3. Yakuwa oli mulungi;

    Nja kukugoberera.

    Ggw’ompa amaanyi; ggw’ompummuza;

    Bye nneetaaga ggw’obimpa.

    Essuubi lyange kkakafu

    Kubanga weesigika.

    Ekisa ky’ondaga n’okwagala,

    Ka bingobererenga.

    ’Kisa ky’ondaga n’okwagala,

    Ka bingobererenga.

(Laba ne Zab. 28:9; 80:1.)