Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 43

Essaala ey’Okwebaza

Essaala ey’Okwebaza

(Zabbuli 95:2)

  1. 1. Ai Yakuwa tukutendereza.

    Katonda waffe tukwebaza nnyo.

    Obulamu bwaffe twabukukwasa

    Kuba tumanyi nti otufaako.

    Tetutuukiridde; tuli boonoonyi

    Naye otusonyiwa bulijjo.

    Wawaayo ’Mwana wo n’atununula.

    Tukwebaza olw’okukutufaako.

  2. 2. Otulaga okwagala kungi nnyo.

    Weebale ’kutusembeza gy’oli.

    Weeyongere okutuyigiriza.

    Tuyambe tube beesigwa gy’oli.

    Weebale okutuwa omwoyo gwo;

    Gutusobozesa ’kubuulira.

    Ka tubenga beetoowaze ’maaso go;

    Ka tusiimenga by’otukolera.