Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 47

Saba Yakuwa Buli Lunaku

Saba Yakuwa Buli Lunaku

(1 Abassessalonika 5:17)

  1. 1. Saba Yakuwa Katonda waffe.

    Nkizo nnene etuweereddwa ffe.

    Yogera naye nga mukwano gwo.

    Mwesigenga mu byonna bulijjo.

    Yakuwa musabenga.

  2. 2. Saba Yakuwa buli kiseera.

    Musabenga okukusonyiwa.

    Tumwatulire ebibi byaffe.

    Akimanyi nga tuli nfuufu ffe.

    Yakuwa musabenga.

  3. 3. Saba Yakuwa bw’oba mu nnaku.

    Ye Kitaffe; ’ssaala aziddamu.

    Saba akukuume; mweyunenga;

    Mwesige; teweeraliikirira.

    Yakuwa musabenga.