Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 55

Temubatyanga!

Temubatyanga!

(Matayo 10:28)

  1. 1. Munywere abantu bange;

    ’Njiri mugibuulire.

    Temutyanga balabe.

    ’Bantu mubamanyise

    Nti Omwana wange Kristo

    Yamala dd’o kusuula

    Sitaani Omulyolyomi

    Era ’jja kumusiba.

    (CHORUS)

    Temutyanga abalabe,

    Ne bwe babatiisa nnyo.

    Nja kukuuma omwesigwa;

    Gye ndi wa muwendo nnyo.

  2. 2. Abalabe ka babeere

    Ba maanyi, nga batiisa,

    Wadde beewoomyawoomya,

    Okukwasa ’bajega.

    Temubatyanga n’akamu;

    Temutekemukanga.

    Nja kuyamba abeesigwa

    Bawangulire ddala.

    (CHORUS)

    Temutyanga abalabe,

    Ne bwe babatiisa nnyo.

    Nja kukuuma omwesigwa;

    Gye ndi wa muwendo nnyo.

  3. 3. Nze maanyi go n’engabo yo;

    Totya nti nkwerabidde.

    Ne bw’ofiira ku ttale,

    Ndikuggya emagombe.

    Tebasaanyawo bulamu

    Abatta omubiri.

    Yolekanga obwesigwa;

    Weesambe ’bintw’e bibi!

    (CHORUS)

    Temutyanga abalabe,

    Ne bwe babatiisa nnyo.

    Nja kukuuma omwesigwa;

    Gye ndi wa muwendo nnyo.