Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 57

Okubuulira Abantu Aba Buli Ngeri

Okubuulira Abantu Aba Buli Ngeri

(1 Timoseewo 2:4)

  1. 1. Twagala nnyo ’kukoppa Katonda,

    Nga twewal’o kuba ’basosoze.

    Ayaniriza abantu bonna

    Kuba ’yagala balokolebwe.

    (CHORUS)

    Ekising’o bukulu

    Gwe mutima gw’omuntu.

    Buulira ’bantu ’ba buli ngeri.

    Twagala ’bantu bonna

    Bamanye nti Katonda

    Ayagala babe mikwano gye.

  2. 2. Endabika y’omuntu kungulu

    Oba ekifo we tumusanze

    Katonda ye si by’atunuulira;

    Afa ku kiri mu mutima gwe.

    (CHORUS)

    Ekising’o bukulu

    Gwe mutima gw’omuntu.

    Buulira ’bantu ’ba buli ngeri.

    Twagala ’bantu bonna

    Bamanye nti Katonda

    Ayagala babe mikwano gye.

  3. 3. Yakuwa ’sembeza buli muntu

    Eyeesamba ensi ya Sitaani.

    Ekyo akituyigirizza ffe,

    Kyetuva tubabuulira bonna.

    (CHORUS)

    Ekising’o bukulu

    Gwe mutima gw’omuntu.

    Buulira ’bantu ’ba buli ngeri.

    Twagala ’bantu bonna

    Bamanye nti Katonda

    Ayagala babe mikwano gye.