OLUYIMBA 57
Okubuulira Abantu Aba Buli Ngeri
-
1. Twagala nnyo ’kukoppa Katonda,
Nga twewal’o kuba ’basosoze.
Ayaniriza abantu bonna
Kuba ’yagala balokolebwe.
(CHORUS)
Ekising’o bukulu
Gwe mutima gw’omuntu.
Buulira ’bantu ’ba buli ngeri.
Twagala ’bantu bonna
Bamanye nti Katonda
Ayagala babe mikwano gye.
-
2. Endabika y’omuntu kungulu
Oba ekifo we tumusanze
Katonda ye si by’atunuulira;
Afa ku kiri mu mutima gwe.
(CHORUS)
Ekising’o bukulu
Gwe mutima gw’omuntu.
Buulira ’bantu ’ba buli ngeri.
Twagala ’bantu bonna
Bamanye nti Katonda
Ayagala babe mikwano gye.
-
3. Yakuwa ’sembeza buli muntu
Eyeesamba ensi ya Sitaani.
Ekyo akituyigirizza ffe,
Kyetuva tubabuulira bonna.
(CHORUS)
Ekising’o bukulu
Gwe mutima gw’omuntu.
Buulira ’bantu ’ba buli ngeri.
Twagala ’bantu bonna
Bamanye nti Katonda
Ayagala babe mikwano gye.
(Laba ne Yok. 12:32; Bik. 10:34; 1 Tim. 4:10; Tit. 2:11.)