OLUYIMBA 60
Tutaase Obulamu Bwabwe
-
1. ’Kuzikirizibwa
kw’ababi kusembedde;
Tutegeeze abantu
bonna bakimanye.
(CHORUS)
Tunyiikire ’kubuulira
Abantu bonna mu nsi.
Bwe tufub’o kubayamba
Tuwony’o bulamu bwabwe
N’obwaffe.
-
2. Tukoowoola ’bantu
badde eri Katonda.
Basaana ’kukikola
awatali kulwa.
(CHORUS)
Tunyiikire ’kubuulira
Abantu bonna mu nsi.
Bwe tufub’o kubayamba
Tuwony’o bulamu bwabwe
N’obwaffe.
(EBIYUNGA)
Kikulu bawulire;
Ekiseera kiweddeyo.
Ffe tubayigiriza
Amazima bawonewo.
(CHORUS)
Tunyiikire ’kubuulira
Abantu bonna mu nsi.
Bwe tufub’o kubayamba
Tuwony’o bulamu bwabwe
N’obwaffe.
(Laba ne 2 Byom. 36:15; Is. 61:2; Ezk. 33:6; 2 Bas. 1:8.)