Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 62

Oluyimba Olupya

Oluyimba Olupya

(Zabbuli 98)

  1. 1. Luyimba lupya; Luyimbirenga Katonda.

    Manyisa by’akoze N’ebyo by’alikola.

    Tenda ’maanyi ge Kubanga ye muwanguzi.

    Mu butuukirivu,

    Alamula ensi.

    (CHORUS)

    Tuyimbe

    Oluyimb’o lupya!

    Tuyimbe!

    Yakuwa Kabaka.

  2. 2. Yimba n’essanyu; Yimbira Katonda waffe!

    Mugulumizenga; Tenda erinnya lye.

    Yimbira wamu N’abantu be abeesigwa.

    ’Nnanga n’ekkondeere

    Bimutendereza.

    (CHORUS)

    Tuyimbe

    Oluyimb’o lupya!

    Tuyimbe!

    Yakuwa Kabaka.

  3. 3. Ennyanja n’ebyo Ebirimu bimutende.

    ’Bantu bonna ku nsi Bamutendereze.

    N’emigga nagyo Ka gikubenga mu ngalo.

    ’Nsozi n’ebiwonvu

    Bimuwe ettendo.

    (CHORUS)

    Tuyimbe

    Oluyimb’o lupya!

    Tuyimbe!

    Yakuwa Kabaka.