Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 67

“Buulira Ekigambo”

“Buulira Ekigambo”

(2 Timoseewo 4:2)

  1. 1. Katonda ’tuwadde ffenna

    Ekiragiro ky’okugondera.

    Beera mwetegefu bulijjo

    ’Kunnyonnyola essuubi ly’olina.

    (CHORUS)

    Buuliranga

    Bafune obubaka.

    Buulira;

    Enkomerero ejja.

    Buulira

    Bamanye ’ky’okukola

    Buulira

    Wonna wonna!

  2. 2. Ebizibu tubiraba.

    Tuziyizibwa; tujolongebwa.

    Wadde abamu tebasiima,

    Tusigala twesiga Katonda.

    (CHORUS)

    Buuliranga

    Bafune obubaka.

    Buulira;

    Enkomerero ejja.

    Buulira

    Bamanye ’ky’okukola

    Buulira

    Wonna wonna!

  3. 3. Emikisa tugiraba,

    N’obwetaavu bw’okuyigiriza.

    Tubuulira Obwakabaka.

    Tutukuz’e linnya lya Yakuwa.

    (CHORUS)

    Buuliranga

    Bafune obubaka.

    Buulira;

    Enkomerero ejja.

    Buulira

    Bamanye ’ky’okukola

    Buulira

    Wonna wonna!