Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 69

Weeyongere Okubuulira Obwakabaka!

Weeyongere Okubuulira Obwakabaka!

(2 Timoseewo 4:5)

  1. 1. Tubuulire abantu bonna

    Mu nsi ku Bwakabaka.

    Tuyambenga abawombeefu,

    Twolese okwagala.

    Nkizo ’kuweereza Katonda;

    Tubuulira ’kigambo kye.

    Weeyongere okubuulira;

    Manyisanga erinnya lye.

    (CHORUS)

    Weeyongere ’maaso

    ’kubuulira Obwakabaka.

    Weeyongere ’kunywerera

    ku ludda lwa Yakuwa.

  2. 2. Ffenna tweyongera mu maaso

    Wamu n’ensigalira.

    Abakadde n’abavubuka

    Tunywezezza ’mazima.

    Amawulire amalungi

    Buli muntu ageetaaga.

    Katonda y’atuwa amaanyi;

    Ye nsonga lwaki tetutya!

    (CHORUS)

    Weeyongere ’maaso

    ’kubuulira Obwakabaka.

    Weeyongere ’kunywerera

    ku ludda lwa Yakuwa.