OLUYIMBA 73
Tuwe Obuvumu
-
1. Bwe tuba nga tubuulira
’Njiri y’Obwakabaka,
Bangi abatuziyiza
N’abatusekerera.
Naye ka tutyenga ggwe,
Tulemenga kutya bantu.
Ai Yakuwa tukusaba
Otuwenga omwoyo gwo.
(CHORUS)
Tuyambe tube bavumu
Okutya kutuggweemu.
Tubuulire n’obuvumu
Ensi yonna emanye
Nti Amagedoni ajja
Lw’onoozikiriza ’babi.
Tukusaba otuwenga
Obuvumu.
-
2. Wadde tubaamu okutya,
Omanyi tuli nfuufu.
Wasuubiz’o kutuyamba
Era tuli bagumu.
Lab’o kutiisatiisa
Kw’abo abatuyigganya.
Tuyambe tugende mu maaso
’Kubuulira n’obuvumu.
(CHORUS)
Tuyambe tube bavumu
Okutya kutuggweemu.
Tubuulire n’obuvumu
Ensi yonna emanye
Nti Amagedoni ajja
Lw’onoozikiriza ’babi.
Tukusaba otuwenga
Obuvumu.
(Laba ne 1 Bas. 2:2; Beb. 10:35.)