OLUYIMBA 78
“Okuyigiriza Ekigambo kya Katonda”
-
1. Okuyigiriza ’bantu
Kituwa essanyu.
Kivaamu n’emiganyulo
Emirala ntoko.
Tukopp’o Muyigiriza
Omukulu Yesu.
Be tuyamba basemberera
Yakuwa Katonda.
-
2. Ebyo bye tuyigiriza,
Ka tubikolenga.
Awo tujja kuweesanga
Katonda ’kitiibwa.
Ekigambo kya Katonda
Ka tukisomenga,
Tusobol’o kuyigiriza
’Bulungi abantu.
-
3. Eby’okukozesa byonna
Yakuwa ’bituwa.
Bwe tumusaba ’tuyambe
Ajja ’ttwanukula.
Twagala nnyo ’Kigambo kye
Era tukyesiga.
Be tuyigiriza bafuuka
Abayigiriza!
(Laba ne Zab. 119:97; 2 Tim. 4:2; Tit. 2:7; 1 Yok. 5:14.)