Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OLUYIMBA 83

“Nnyumba ku Nnyumba”

“Nnyumba ku Nnyumba”

(Ebikolwa 20:20)

  1. 1. Tugenda ku buli nnyumba;

    Tutwal’o bubaka.

    Mu bibuga ne mu byalo,

    ’Ndiga ziriisibwa.

    Enjiri y’Obwakabaka

    Gye yalanga Yesu,

    Ebuulirwa mu nsi yonna

    ’Bato n’abakulu.

  2. 2. Tugenda ku buli nnyumba;

    Tubuulira wonna.

    Abakoowoola Yakuwa

    Balirokolebwa.

    Balimukoowoola batya

    Nga tebamumanyi?

    Erinnya lye ka lituuke

    Mu nnyumba gye bali.

  3. 3. Ka tutuuse mu buli nju

    Obubaka buno.

    Tuwe bonna akakisa

    Okweronderawo.

    Tumanyise ’linnya lya Ya

    N’amazima gonna.

    Bwe tubuulira nju ku nju,

    ’Ndiga tuzizuula.