OLUYIMBA 90
Tuzziŋŋanemu Amaanyi
-
1. Bwe tuzziŋŋanamu amaanyi
Nga tuweereza Yakuwa,
Tweyongera okwagalana
N’okuba obumu ffenna.
Okwagala okuli mu ffe
Kutuyamba okunywera.
Ekibiina bwe buddukiro
Era ffe kye kitukuuma.
-
2. ’Kigambo ekituukirawo
Ddala kitusanyusa nnyo.
Tuwulir’e bigambo ng’ebyo
Okuva mu b’oluganda.
Kirungi ’kukolera ’wamu
Ne baganda baffe bonna.
Buli omu azimba munne,
Ffenna ne tuyambagana.
-
3. Nga bwe lugenda lusembera
Olunaku lwa Yakuwa,
Tulina okukuŋŋaananga
Tunywerere mu mazima.
Ffenna ng’abantu ba Yakuwa,
Tuweererezenga wamu.
Ka tuzziŋŋanemu amaanyi
Tukuum’o bwesigwa bwaffe.
(Laba ne Luk. 22:32; Bik. 14:21, 22; Bag. 6:2; 1 Bas. 5:14.)