OLUYIMBA 158
‘Terujja Kulwa’ (Oluyimba lw’Olukuŋŋaana Olunene Olwa 2023)
1. Bitonde byonna ebiri mu nsi—
Ggwe wabikola; byonna bisanyusa.
Ensi wadde ’kyuse, Ggw’oli kye kimu.
Olindiridde okugitereeza.
(CHORUS)
Twesung’e nsi empya; Kitaffe tuyambe
Okugumiikiriza.
Nga bwe wasuubiza, ’lunaku lwo lujja
Mu kiseer’e kituufu.
‘Terujja kulwa!’
2. Tulindiridde era twesunga
Yakuwa lw’ojja ’kuzuukiza ’bafu.
Tukimanyi nti naawe weesunga.
Tuyambe tube bagumiikiriza.
(CHORUS)
Twesung’e nsi empya; Kitaffe tuyambe
Okugumiikiriza.
Nga bwe wasuubiza, ’lunaku lwo lujja
Mu kiseer’e kituufu.
‘Terujja kulwa!‘
3. ’Bugumiikiriza er’o bwoleka
Ng’onoonya bonna ’baagala ’mazima.
Bafun’e ssuubi ery’obulamu.
Watuw’e nkizo okukola naawe.
(CHORUS)
Twesung’e nsi empya; Kitaffe tuyambe
Okugumiikiriza.
Nga bwe wasuubiza, ’lunaku lwo lujja
Mu kiseer’e kituufu,
‘Terujja kulwa!‘
Ka tugumiikirize!
(Laba ne Bak. 1:11.)