1 Abakkolinso 16:1-24
16 Kale ku bikwata ku kukuŋŋaanyiza abatukuvu ebintu,+ nammwe mukole nga bwe nnalagira ebibiina by’e Ggalatiya.
2 Buli lunaku olusooka mu wiiki buli omu ku mmwe abeeko ky’aterekawo okusinziira ku ebyo by’alina, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
3 Naye bwe ndijja eyo, abo be mulisemba mu mabaluwa gammwe+ be ndituma okutwala ekirabo kyammwe e Yerusaalemi.
4 Kyokka bwe kiriba kisaanira nange okugendayo, bajja kugenda nange.
5 Naye nja kujja gye muli nga mmaze okuyita e Masedoniya,+ kubanga eyo gye ŋŋenda okuyita;
6 era oboolyawo nja kubeera nammwe, mpozzi n’okumalirako ddala ekiseera eky’obutiti, mulyoke mumperekereko gye ndiba ŋŋenda.
7 Kubanga saagala kubalaba nga mpitawo buyisi, olw’okuba nsuubira okubeera nammwe okumala ekiseera,+ Yakuwa* bw’aliba ayagadde.
8 Naye ŋŋenda kusigala mu Efeso+ okutuusa ku Mbaga ya Pentekooti;
9 kubanga oluggi olunene olw’emirimu lunziguliddwawo,+ naye waliwo abalabe bangi.
10 Timoseewo bw’atuuka eyo,+ mukakase nti taba na kutya kwonna ng’ali nammwe kubanga naye akola omulimu gwa Yakuwa*+ nga nze.
11 N’olwekyo, waleme kubaawo amunyooma. Mumusiibule ajje gye ndi, kubanga nze n’ab’oluganda tumulindiridde.
12 Ku bikwata ku muganda waffe Apolo,+ nnamwegayirira nnyo ajje gye muli n’ab’oluganda. Teyalina kigendererwa kya kujja gye muli mu kiseera kino, naye bw’anaafuna akakisa ajja kujja.
13 Mutunulenga,+ munywerere mu kukkiriza,+ mubeere bavumu,+ mubeere ba maanyi.+
14 Buli kimu kye mukola mukikolenga mu kwagala.+
15 Mbeegayirira ab’oluganda: Mumanyi nti ab’ennyumba ya Siteefana bye bibala ebibereberye mu Akaya era beewaayo okuweereza abatukuvu.
16 Nammwe mugonderenga abantu abali ng’abo na buli muntu yenna akola naffe era afuba.+
17 Naye nsanyukira nnyo okubeerawo kwa Siteefana,+ Folutunaato, ne Akayiko, kubanga wadde nga mmwe temuli wano nange, bo babakiikiridde.
18 Basanyusizza omwoyo gwange n’ogwammwe. N’olwekyo, abantu ng’abo mubawenga ekitiibwa.
19 Ebibiina by’omu Asiya bibalamusizza. Akula ne Pulisika n’ab’omu kibiina ekikuŋŋaanira mu nnyumba yaabwe+ babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
20 Ab’oluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.
21 Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange.
22 Singa omuntu yenna tayagala Mukama waffe, akolimirwe. Ai Mukama waffe, jjangu!
23 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu kibeere nammwe.
24 Okwagala kwange kubeere nammwe mmwenna abali obumu ne Kristo Yesu.