1 Abakkolinso 9:1-27
9 Siri wa ddembe? Siri mutume? Saalaba Yesu Mukama waffe?+ Si mmwe mulimu gwange mu Mukama waffe?
2 Bwe mba nga siri mutume eri abalala, mazima ddala ndi mutume gye muli kubanga mmwe kabonero akakakasa nti ndi mutume wa Mukama waffe.
3 Nneewozaako bwe nti eri abo abansalira omusango:
4 Tetulina ddembe* kulya na kunywa?
5 Tetulina ddembe kuwasa na kutambulanga ne bakyala baffe,+ ng’abatume abalala, ne baganda ba Mukama waffe,+ ne Keefa*+ bwe bakola?
6 Oba nze ne Balunabba+ ffe tutalina ddembe obutakola mirimu egy’okweyimirizaawo?
7 Musirikale ki eyeesasulira bye yeetaaga? Ani asimba ennimiro y’emizabbibu n’atalya bibala byamu?+ Ani alunda ekisibo n’atanywa mata gaakyo?
8 Bino byonna mbyogera nga nsinziira ku ndowooza z’abantu? Amateeka nago tegoogera ku bintu bino?
9 Kubanga mu Mateeka ga Musa kyawandiikibwa nti: “Tosibanga mumwa gwa nte ng’ewuula.”+ Ente Katonda z’afaako?
10 Oba kino akyogera ku lwaffe? Mazima ddala kyawandiikibwa ku lwaffe, kubanga alima asaanidde okulima ng’alina essuubi, n’oyo awuula asaanidde okuwuula ng’alina essuubi ery’okufuna omugabo.
11 Bwe kiba nti tusize ebintu eby’omwoyo mu mmwe, kiba kikyamu bwe tukungula ebyetaago eby’omubiri okuva gye muli?+
12 Bwe kiba nti abantu abalala balina obuyinza obwo ku mmwe, ffe tetubulina n’okusingawo? Wadde kiri kityo, tetukozesezza buyinza obwo+ wabula tugumiikiriza mu byonna, tuleme kuziyiza amawulire amalungi agakwata ku Kristo.+
13 Temumanyi nti abantu abakola emirimu emitukuvu balya ku bintu by’omu yeekaalu, n’abo abakola emirimu gy’oku kyoto bagabana ku biweebwayo ku kyoto?+
14 Mu ngeri y’emu, Mukama waffe yalagira nti abo abalangirira amawulire amalungi bayimirizibwewo amawulire amalungi.+
15 Naye tewali na kimu ku bino kye nneeyambisizza.+ Mazima ddala, siwandiise bintu bino olw’okuba njagala kinkolerwe, waakiri nze okufa okusinga—tewali muntu ajja kunzigyako ekyo ekindeetera okwenyumiriza!+
16 Kale bwe mba nga nnangirira amawulire amalungi, ekyo tekindeetera kwenyumiriza kubanga nnina okugalangirira. Mazima ddala zinsanze bwe sirangirira mawulire malungi!+
17 Singa kino nkikola kyeyagalire, nja kufuna empeera; naye ne bwe sikikola kyeyagalire, nnina obuwanika obwankwasibwa.+
18 Kati empeera yange y’eruwa? Kwe kulangirira amawulire amalungi awatali kusasulwa, nneme kukozesa bubi buyinza bwange ku bikwata ku mawulire amalungi.
19 Wadde nga ndi wa ddembe eri abantu bonna, nneefudde muddu eri bonna nsobole okufuna abantu bangi nga bwe kisoboka.
20 Eri Abayudaaya nnafuuka ng’Omuyudaaya nsobole okufuna Abayudaaya;+ eri abo abali wansi w’amateeka nnafuuka ng’ali wansi w’amateeka nsobole okufuna abo abali wansi w’amateeka, wadde nga siri wansi w’amateeka.+
21 Eri abo abatalina mateeka nnafuuka ng’atalina mateeka, si lwa kuba nti sirina mateeka ga Katonda, naye ndi wansi w’amateeka ga Kristo,+ nsobole okufuna abo abatalina mateeka.
22 Eri abanafu nnafuuka munafu nsobole okufuna abanafu.+ Nfuuse byonna eri abantu aba buli ngeri nsobole okulokola abamu.
23 Nkola ebintu byonna olw’amawulire amalungi nsobole okugabuulirako abalala.+
24 Temumanyi nti abaddusi mu mbiro ez’empaka bonna badduka naye omu yekka y’afuna ekirabo? Mudduke mu ngeri eneebasobozesa okukifuna.+
25 Ate era buli muntu eyeetaba mu mizannyo gy’empaka yeefuga mu bintu byonna. Kyokka ekyo bakikola basobole okufuna engule eyonooneka,+ naye ffe etayonooneka.+
26 N’olwekyo, sidduka ng’atamanyi gye ndaga;+ ebikonde byange sibikuba ng’akuba ebbanga;
27 naye nkuba* omubiri gwange+ era ngufuga ng’omuddu, nneme butasiimibwa nga mmaze okubuulira abalala.