1 Abassessalonika 1:1-10

  • Okulamusa (1)

  • Pawulo yeebaza Katonda olw’okukkiriza kw’Abassessalonika (2-10)

1  Nze Pawulo, nga ndi wamu ne Siruvano,*+ ne Timoseewo,+ mpandiikira ekibiina ky’e Ssessalonika ekiri obumu ne Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo: Ekisa eky’ensusso n’emirembe bibeere nammwe.  Bulijjo twebaza Katonda nga tuboogerako mmwenna mu kusaba kwaffe,+  kubanga bulijjo tujjukira mu maaso ga Katonda era Kitaffe omulimu gwe mukola olw’okukkiriza kwammwe, n’okufuba kwammwe okukubirizibwa okwagala, n’obugumiikiriza bwe mulina olw’essuubi+ lye mutadde mu Mukama waffe Yesu Kristo.  Ab’oluganda abaagalibwa Katonda, tumanyi nti Katonda ye yabalonda,  kubanga amawulire amalungi ge tubuulira tegaalangirirwa gye muli mu bigambo bugambo, naye era gaalangirirwa n’amaanyi, n’omwoyo omutukuvu, era n’obukakafu obw’amaanyi, nga bwe mumanyi engeri gye tweyisaamu ku lwammwe.  Mwatukoppa+ era ne mukoppa ne Mukama waffe,+ okuva bwe mwakkiriza ekigambo mu kubonaabona okungi+ nga mulina essanyu ery’omwoyo omutukuvu,  ne mubeera ekyokulabirako eri abakkiriza bonna mu Masedoniya ne mu Akaya.  Ekituufu kiri nti, ekigambo kya Yakuwa* kiwuliddwa okuva gye muli mu Masedoniya ne mu Akaya, era okukkiriza kwe mulina mu Katonda kubunye mu buli kifo,+ ne kiba nti tetwetaaga na kubaako kye twogera.  Kubanga bo bennyini boogera ku lwe twasooka okujja gye muli era n’engeri gye mwaleka ebifaananyi byammwe+ ne mudda eri Katonda, musobole okuweereza Katonda omulamu era ow’amazima, 10  n’okulindirira Omwana we okuva mu ggulu,+ gwe yazuukiza mu bafu, nga ye Yesu, atuwonya obusungu obugenda okujja.+

Obugambo Obuli Wansi

Era ayitibwa Siira.