1 Bassekabaka 10:1-29

  • Kabaka omukazi ow’e Seba (1-13)

  • Obugagga bwa Sulemaani (14-29)

10  Kabaka omukazi ow’e Seba bwe yawulira ku ttutumu Sulemaani lye yali afunye olw’erinnya lya Yakuwa,+ n’ajja amugezese ng’amubuuza ebibuuzo ebizibu ennyo.+  Yatuuka e Yerusaalemi n’abantu bangi nnyo,+ n’eŋŋamira nga zeetisse amafuta ga basamu,+ ne zzaabu mungi nnyo, n’amayinja ag’omuwendo, n’agenda eri Sulemaani n’amubuulira byonna ebyali ku mutima gwe.  Sulemaani n’amuddamu byonna bye yamubuuza, era tewali na kimu kyazibuwalira* Sulemaani kumunnyonnyola.  Kabaka omukazi ow’e Seba bwe yalaba amagezi ga Sulemaani,+ n’ennyumba gye yali azimbye,+  n’emmere eyagabulwanga ku mmeeza ye,+ n’engeri abakungu be gye baatuulangamu, n’engeri abaaweerezanga emmere gye baaweerezangamu, n’ennyambala yaabwe, n’engeri abaaweerezanga eby’okunywa gye baawerezangamu, era ne ssaddaaka ezookebwa ze yawangayo bulijjo ku nnyumba ya Yakuwa, n’awuniikirira.*  N’agamba kabaka nti: “Bye nnawulira mu nsi yange ebikwata ku bintu by’okoze* n’ebikwata ku magezi go bituufu.  Naye saakkiriza byaŋŋambibwa okutuusa lwe nzize ne nneerabirako n’amaaso gange. Tebambuulira byonna. Amagezi go n’obugagga bwo bisukkulumye nnyo ku ebyo bye nnawulira.  Abasajja bo beesiimye, n’abaweereza bo abayimirira mu maaso go bulijjo ne bawuliriza amagezi go nabo beesiimye!+  Yakuwa Katonda wo atenderezebwe,+ eyakusiima n’akuteeka ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri. Olw’okuba okwagala Yakuwa kw’alina eri Isirayiri kwa mirembe gyonna, yakulonda okuba kabaka olamulenga mu bwenkanya ne mu butuukirivu.” 10  Awo n’awa Kabaka Sulemaani ttalanta* za zzaabu 120, n’amafuta ga basamu mangi nnyo,+ era n’amayinja ag’omuwendo.+ Tewaddayo kuleetebwa mafuta ga basamu mangi ng’ago kabaka omukazi ow’e Seba ge yawa Kabaka Sulemaani. 11  Ebyombo bya Kiramu ebyaleetanga zzaabu okuva mu Ofiri,+ era byaleetanga n’embaawo+ nnyingi nnyo ez’emigavu okuva mu Ofiri n’amayinja ag’omuwendo.+ 12  Embaawo z’emigavu kabaka yazikolamu ebiwanirira eby’ennyumba ya Yakuwa n’ebiwanirira eby’ennyumba ya* kabaka n’entongooli n’ebivuga eby’enkoba eby’abayimbi.+ Embaawo z’emiti gy’emigavu eziringa ezo teziddangamu kuleetebwa wadde okulabibwako n’okutuusa leero. 13  Kabaka Sulemaani yawa kabaka omukazi ow’e Seba byonna ebyamusanyusa bye yasaba, ng’oggyeeko ebyo Kabaka Sulemaani bye yamuwa obuwi olw’omwoyo gwe omugabi.* Awo kabaka omukazi n’addayo mu nsi ye wamu n’abaweereza be.+ 14  Zzaabu Sulemaani gwe yafunanga buli mwaka yali azitowa ttalanta 666 eza zzaabu,+ 15  nga tobaliddeeko oyo eyavanga mu basuubuzi n’amagoba agaafunibwanga ku batunzi ne ku bakabaka bonna ab’Abawalabu ne ku bagavana ab’omu nsi. 16  Kabaka Sulemaani yakola engabo ennene 200 eza zzaabu omutabike+ (buli ngabo yagiteekako sekeri* 600 eza zzaabu)+ 17  n’engabo entono* 300 eza zzaabu omutabike (buli ngabo yagiteekako mina* ssatu eza zzaabu). Kabaka yaziteeka mu Nnyumba ey’Ekibira kya Lebanooni.+ 18  Ate era Kabaka yakola entebe y’obwakabaka ennene ennyo ey’amasanga+ n’agissaako zzaabu alongooseddwa.+ 19  Waaliwo amadaala mukaaga okutuuka ku ntebe y’obwakabaka, era emabega w’entebe y’obwakabaka waggulu waaliyo ekibikkirira ekyetooloovu; yaliko awateekebwa emikono eruuyi n’eruuyi, era ku buli ludda lw’awateekebwa emikono waaliwo ekibumbe ky’empologoma eyimiridde.+ 20  Waaliwo ebibumbe by’empologoma 12 nga biyimiridde eruuyi n’eruuyi ku madaala omukaaga. Tewaali bwakabaka bulala obwali bukoze entebe eringa eyo. 21  Ebintu byonna Kabaka Sulemaani bye yanywerangamu byali bya zzaabu, n’ebintu byonna eby’omu Nnyumba ey’Ekibira kya Lebanooni+ byali bya zzaabu omulongoofu. Tewaaliwo kintu kyonna kya ffeeza, kubanga mu kiseera kya Sulemaani ffeeza yali tatwalibwa ng’ekintu eky’omuwendo.+ 22  Kabaka yalina ebyombo by’e Talusiisi+ ku nnyanja ebyali n’ebyombo bya Kiramu. Ebyombo by’e Talusiisi byajjanga omulundi gumu buli luvannyuma lwa myaka esatu nga byetisse zzaabu, ffeeza, amasanga,+ enkima, n’ennyonyi muzinge. 23  Kabaka Sulemaani yali asinga bakabaka abalala bonna ab’omu nsi obugagga+ n’amagezi.+ 24  Abantu bonna ab’omu nsi bajjanga okulaba* Sulemaani bawulire amagezi Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.+ 25  Buli omu yaleetanga ekirabo—ebintu ebya ffeeza, ebintu ebya zzaabu, ebyambalo, eby’okulwanyisa, amafuta ga basamu, embalaasi, n’ennyumbu—era kino kyabanga bwe kityo mwaka ku mwaka. 26  Sulemaani yeekuŋŋaanyiza amagaali n’embalaasi;* yalina amagaali 1,400 n’embalaasi* 12,000,+ era yabiteeka mu bibuga omwaterekebwanga amagaali era ne mu Yerusaalemi okumpi ne kabaka.+ 27  Ffeeza kabaka gwe yalina mu Yerusaalemi yali mungi nnyo ng’amayinja, n’embaawo z’entolokyo ze yalina zaali nnyingi nnyo ng’emiti gy’emisukamooli egiri mu Sefera.+ 28  Embalaasi za Sulemaani zaggibwanga Misiri, era abasuubuzi ba kabaka baagulanga magana.*+ 29  Eggaali limu baaligulanga e Misiri ebitundu bya ffeeza 600, ate embalaasi emu baagigulanga ebitundu bya ffeeza 150, era oluvannyuma baabiguzanga bakabaka bonna ab’Abakiiti+ n’aba Busuuli.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “kyakwekebwa.”
Obut., “omwoyo ne gumuggwaamu.”
Oba, “bigambo byo.”
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Oba, “eby’olubiri lwa.”
Obut., “okusinziira ku mukono gwa Kabaka Sulemaani.”
Sekeri yali yenkana gramu 11.4. Laba Ebyong. B14.
Engabo entono zaateranga kukwatibwa balasi ba busaale.
Mina eyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya yali yenkana gramu 570. Laba Ebyong. B14.
Obut., “baanoonyanga obwenyi bwa.”
Oba, “n’abeebagazi b’embalaasi.”
Oba, “n’abeebagazi b’embalaasi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “okuva e Misiri n’e Kuwe; abasuubuzi ba kabaka baazigulanga Kuwe.” Oboolyawo Kuwe kye kibuga Kirikiya.