1 Bassekabaka 9:1-28

  • Yakuwa addamu okulabikira Sulemaani (1-9)

  • Ekirabo Sulemaani ky’awa Kabaka Kiramu (10-14)

  • Ebintu eby’enjawulo Sulemaani by’akola (15-28)

9  Sulemaani olwamala okuzimba ennyumba ya Yakuwa n’ennyumba* ya kabaka+ n’okukola ebintu byonna bye yali ayagala okukola,+  Yakuwa n’alabikira Sulemaani omulundi ogw’okubiri, nga bwe yamulabikira e Gibiyoni.+  Yakuwa n’amugamba nti: “Mpulidde okusaba kwo n’okwegayirira kwo kwe weegayiridde mu maaso gange. Ntukuzza ennyumba eno gy’ozimbye ne nteeka omwo erinnya lyange libeere omwo emirembe gyonna,+ era amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga eyo bulijjo.+  Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange nga kitaawo Dawudi bwe yakola+ n’omutima gwe gwonna,+ era n’obugolokofu+ n’okola ebyo byonna bye nkulagidde,+ era n’okwata ebiragiro byange n’amateeka gange,+  awo nja kunyweza entebe y’obwakabaka bwo ku Isirayiri emirembe n’emirembe, nga bwe nnasuubiza Dawudi kitaawo nga ŋŋamba nti: ‘Tewaalemenga kubaawo musajja wa mu lunyiriri lwo atuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri.’+  Naye mmwe n’abaana bammwe bwe munaakyuka ne mulekera awo okungoberera n’okukwata amateeka gange n’ebiragiro byange bye ntadde mu maaso gammwe, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala ne mubavunnamira,+  nja kusaanyaawo Isirayiri mu nsi gye mbawadde,+ n’ennyumba gye ntukuzizza olw’erinnya lyange nja kugyabulira,+ era ne Isirayiri ejja kufuuka ekintu ekinyoomebwa* era ekisekererwa mu mawanga gonna.+  Ate era ennyumba eno erifuuka ntuumu ya bifunfugu.+ Buli aligiyitako aligitunuulira n’awuniikirira n’afuuwa oluwa era n’agamba nti: ‘Lwaki Yakuwa yakola bw’ati ensi eno n’ennyumba eno?’+  Balimuddamu nti: ‘Olw’okuba baava ku Yakuwa Katonda waabwe eyaggya bajjajjaabwe mu nsi ya Misiri, ne beefunira bakatonda abalala ne babavunnamira era ne babaweereza. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yabaleetako emitawaana egyo gyonna.’”+ 10  Emyaka 20 bwe gyaggwaako, Sulemaani gye yazimbiramu ebizimbe byombi, ennyumba ya Yakuwa n’ennyumba ya* kabaka,+ 11  Kabaka Sulemaani n’awa Kiramu ebibuga 20 mu kitundu ky’e Ggaliraaya; Kiramu+ kabaka wa Ttuulo yali awadde Sulemaani embaawo z’emiti gy’entolokyo n’embaawo z’emiti gy’emiberosi ne zzaabu yenna gwe yali ayagala.+ 12  Awo Kiramu n’ava e Ttuulo n’agenda okulaba ebibuga Sulemaani bye yali amuwadde, naye n’atabisiima.* 13  N’agamba nti: “Bibuga bya ngeri ki bino by’ompadde, muganda wange?” Ne biyitibwa Ensi ya Kabuli* n’okutuusa leero. 14  Kiramu yaweereza kabaka ttalanta* 120 eza zzaabu.+ 15  Kabaka Sulemaani yakozesa abantu emirimu egy’obuddu+ okuzimba ennyumba ya Yakuwa,+ n’ennyumba ye,* n’Ekifunvu,*+ ne bbugwe wa Yerusaalemi, ne Kazoli,+ ne Megiddo,+ ne Gezeri.+ 16  Falaawo kabaka wa Misiri yali alumbye Gezeri n’akiwamba, n’akyokya omuliro, era yali asse n’Abakanani+ abaakirimu. Yakiwa muwala we,+ muka Sulemaani, ng’ekirabo ng’amusiibula.* 17  Sulemaani yazimba* Gezeri ne Besu-kolooni ow’eky’Emmanga,+ 18  ne Baalasi+ ne Tamali ekiri mu ddungu mu nsi eyo, 19  n’ebibuga bya Sulemaani byonna ebyali eby’okuterekangamu ebintu, n’ebibuga byonna omwaterekebwanga amagaali,+ n’ebibuga eby’abeebagazi b’embalaasi, na buli kyonna Sulemaani kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yali afuga. 20  Abantu bonna abaasigalawo ku Baamoli, n’Abakiiti, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,+ abantu abataali Bayisirayiri,+ 21  kwe kugamba, bazzukulu baabwe abaali basigaddewo mu nsi—abo Abayisirayiri be bataayinza kuzikiriza—Sulemaani yabafuula baddu n’abakozesa emirimu egy’obuwaze, era bakyagikola n’okutuusa leero.+ 22  Naye tewali n’omu ku Bayisirayiri Sulemaani gwe yafuula muddu,+ kubanga baali balwanyi be, baweereza, baami, bakungu, era abaakuliranga abavuga amagaali ge n’abeebagala embalaasi. 23  Waaliwo abaami 550 abaakuliranga abo abaalabiriranga emirimu gya Sulemaani, era abo be baali bannampala b’abakozi.+ 24  Naye muwala wa Falaawo+ yava mu Kibuga kya Dawudi+ n’agenda mu nnyumba ye Sulemaani gye yali amuzimbidde; awo Sulemaani n’alyoka azimba Ekifunvu.*+ 25  Emirundi esatu mu mwaka,+ Sulemaani yawangayo ssaddaaka ezookebwa ne ssaddaaka ez’emirembe ku kyoto kye yazimbira Yakuwa,+ era yanyookerezanga n’omukka gwa ssaddaaka ku kyoto ekyali mu maaso ga Yakuwa; bw’atyo Sulemaani n’amaliriza ennyumba.+ 26  Kabaka Sulemaani yakola n’ebyombo bingi mu Eziyoni-geberi+ ekiri okumpi n’e Erosi, ku lubalama lw’Ennyanja Emmyufu mu nsi ya Edomu.+ 27  Kiramu yatuma abaweereza be, abalunnyanja abaalina obumanyirivu, ne bagenda n’ebyombo+ okukolera awamu n’abaweereza ba Sulemaani. 28  Baagenda mu Ofiri+ ne baggyayo ttalanta 420 eza zzaabu ne bazireetera Kabaka Sulemaani.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “n’olubiri.”
Obut., “lugero.”
Oba, “n’olubiri lwa.”
Obut., “tebyali bituufu mu maaso ge.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Ekitundu Ekitalina Mugaso.”
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Oba, “Millo.” Kigambo kya Lwebbulaniya ekitegeeza “okujjuza.”
Oba, “n’olubiri lwe.”
Oba, “ng’ekirabo ky’embaga; ng’ebintu ebiweebwayo ku buko.”
Oba, “yanyweza.”
Oba, “Millo.” Kigambo kya Lwebbulaniya ekitegeeza “okujjuza.”