1 Ebyomumirembe Ekisooka 12:1-40
-
Abawagira Dawudi okufuga nga kabaka (1-40)
12 Bano be bajja eri Dawudi e Zikulagi,+ bwe yali nga yeekwese Sawulo+ mutabani wa Kiisi; be bamu ku balwanyi ab’amaanyi abaamuyamba mu lutalo.+
2 Baalina emitego gy’obusaale, era baali basobola okukozesa omukono ogwa ddyo n’ogwa kkono+ okuvuumuula amayinja+ oba okulasa obusaale nga bakozesa omutego. Baali baganda ba Sawulo nga ba mu kika kya Benyamini.+
3 Akiyezeeri ye yali omukulu waabwe, awamu ne Yowaasi, batabani ba Sema Omugibeya,+ ne Yeziyeri ne Pereti, batabani ba Azumavesi,+ ne Beraka, ne Yeeku Omwanasosi,
4 ne Isumaya Omugibiyoni,+ eyali omulwanyi ow’amaanyi mu baami asatu+ era eyali akulira asatu; ne Yeremiya ne Yakaziyeeri ne Yokanani ne Yozabadi Omugedera,
5 ne Eruzayi ne Yerimosi ne Beyaliya ne Semaliya ne Sefatiya Omukalifu,
6 ne Erukaana ne Issiya ne Azaleri ne Yowezeeri ne Yasobeyamu, Abakoola; +
7 ne Yowera ne Zebadiya, batabani ba Yerokamu ow’e Gedoli.
8 Abamu ku Bagaadi beegatta ku Dawudi ng’ali mu kifo ekizibu okutuukamu, mu ddungu;+ baali balwanyi ab’amaanyi, abasirikale abaatendekebwa okulwana entalo, abakugu mu kukozesa engabo ennene n’amafumu. Obwenyi bwabwe bwalinga obw’empologoma era nga bawenyuka ng’enjaza ku nsozi.
9 Ezeri ye yali omukulu, ow’okubiri Obadiya, ow’okusatu Eriyaabu,
10 ow’okuna Misumanna, ow’okutaano Yeremiya,
11 ow’omukaaga Attayi, ow’omusanvu Eryeri,
12 ow’omunaana Yokanani, ow’omwenda Eruzabadi,
13 ow’ekkumi Yeremiya, n’ow’ekkumi n’omu Makubannayi.
14 Abo be baali Abagaadi,+ abakulu b’eggye. Eyali asembayo okuba n’amaanyi amatono yali asobola okulwanyisa abantu 100, ate eyali asingayo okuba ow’amaanyi yali asobola okulwanyisa abantu 1,000.+
15 Abo be baasomoka Yoludaani mu mwezi ogusooka ng’omugga ogwo gwanjadde, ne bagoba abo bonna abaabeeranga mu biwonvu, ne babasaasaanyiza ebuvanjuba n’ebugwanjuba.
16 Abamu ku basajja ba Benyamini n’aba Yuda baagenda eri Dawudi mu kifo ekizibu okutuukamu.+
17 Awo Dawudi n’ajja mu maaso gaabwe n’abagamba nti: “Bwe muba muzze lwa mirembe gye ndi okunnyamba, omutima gwange gujja kuba bumu nammwe. Naye bwe muba nga muzze kundyamu lukwe mumpeeyo eri abalabe bange, nga sirina kikyamu kye nnakola, Katonda wa bajjajjaffe k’akirabe era alamule.”+
18 Awo omwoyo ne gujja ku* Amasayi+ eyali akulira asatu, n’agamba nti:
“Tuli babo Dawudi, era tuli naawe omwana wa Yese.+
Emirembe gibe naawe, era emirembe gibe n’oyo akuyamba,Kubanga Katonda wo akuyamba.”+
Awo Dawudi n’abaaniriza n’abafuula abakulu mu magye.
19 Abamu ku b’ekika kya Manase badda ku ludda lwa Dawudi bwe yagenda n’Abafirisuuti okulwanyisa Sawulo; naye teyayamba Bafirisuuti, kubanga oluvannyuma lw’abafuzi b’Abafirisuuti+ okuteeseganya, baamugoba nga bagamba nti: “Ajja kutuvaako yeegatte ku mukama we Sawulo, obulamu bwaffe bubeere mu kabi.”+
20 Bwe yagenda e Zikulagi,+ ab’ekika kya Manase abaamwegattako be bano: Aduna, Yozabadi, Yediyayeri, Mikayiri, Yozabadi, Eriku, ne Ziresayi, abakulu b’enkumi za Manase.+
21 Baayamba Dawudi okulwanyisa ekibinja ky’abazigu, kubanga bonna baali basajja ba maanyi era nga bazira,+ era baafuuka bakulu mu magye.
22 Buli lunaku abantu bajjanga eri Dawudi+ okumuyamba, okutuusa lwe baafuuka eggye eddene ng’eggye lya Katonda.+
23 Gino gye miwendo gy’abasajja abaali abeetegefu okulwana abajja eri Dawudi e Kebbulooni+ okumufuula kabaka mu kifo kya Sawulo nga Yakuwa bwe yalagira:+
24 Abasajja ba Yuda abaalina engabo ennene n’amafumu baali 6,800 nga beetegefu okulwana.
25 Abasimiyoni, abasajja ab’amaanyi era abazira ab’omu ggye baali 7,100.
26 Abaleevi baali 4,600.
27 Yekoyaada+ ye yali akulira abaana ba Alooni,+ era abaali naye baali 3,700,
28 ne Zadooki,+ omuvubuka ow’amaanyi era omuzira, awamu n’abaami 22 ab’ennyumba ya bakitaabe.
29 Ababenyamini, baganda ba Sawulo,+ baali 3,000. Abasinga obungi ku bo emabegako baali banyweredde ku nnyumba ya Sawulo.
30 Abeefulayimu baali 20,800, abasajja ab’amaanyi, abazira, era abaatiikirivu mu nnyumba za bakitaabwe.
31 Ab’ekitundu ekimu eky’okubiri eky’ekika kya Manase abaamenyebwa amannya okugenda okufuula Dawudi kabaka, baali 18,000.
32 Mu b’ekika kya Isakaali mwalimu ababakulira 200 abaali basobola okutegeera obulungi ebiseera ne bamanya Isirayiri kye yabanga erina okukola, era baganda baabwe bonna baagonderanga ebiragiro byabwe.
33 Ab’ekika kya Zebbulooni, abasirikale abaali abeetegefu okulwana era nga balina eby’okulwanyisa byonna eby’olutalo, baali 50,000; bonna beegatta ku Dawudi n’omutima gumu.*
34 Ab’ekika kya Nafutaali baali abaami 1,000 era baali wamu n’abalwanyi 37,000 abaalina engabo ennene n’amafumu.
35 Ab’ekika kya Ddaani abaali abeetegefu okulwana baali 28,600.
36 Ab’ekika kya Aseri, abasirikale abaali abeetegefu okulwana baali 40,000.
37 Okuva emitala wa Yoludaani,+ Abalewubeeni n’Abagaadi n’ab’ekitundu ekimu eky’okubiri ekya Manase, baali abasirikale 120,000 nga balina eby’okulwanyisa ebya buli ngeri.
38 Abo bonna baali basajja balwanyi abaasimbanga ennyiriri okulwana; bonna bajja e Kebbulooni n’omutima gumu okufuula Dawudi kabaka wa Isirayiri yonna; n’Abayisirayiri abalala bonna baalina omutima gumu okufuula Dawudi kabaka.+
39 Baabeera eyo ne Dawudi okumala ennaku ssatu, nga balya era nga banywa, kubanga baganda baabwe baali babategekedde.
40 Era n’abo abaali okumpi, awamu n’abo abaali ewala mu kitundu kya Isakaali n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali, baaleetera eby’okulya bino ku ndogoyi ne ku ŋŋamira ne ku nnyumbu ne ku nte: eby’okulya ebikoleddwa mu buwunga, ebitole by’ettiini, ebitole by’ezzabbibu enkalu, omwenge, amafuta g’omuzeyituuni, n’ente n’endiga, nga bingi nnyo, kubanga waaliwo okusanyuka mu Isirayiri.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ne gwambala.”
^ Oba, “bonna abeegatta ku Dawudi tebaalina mitima ebiri.”