1 Ebyomumirembe Ekisooka 13:1-14

  • Essanduuko eggibwa e Kiriyasu-yalimu (1-14)

13  Awo Dawudi n’ayogera n’abaali bakulira enkumi n’abakulira ebikumi na buli mukulu;+  Dawudi n’agamba ekibiina kya Isirayiri kyonna nti: “Bwe kiba nga kirungi gye muli era nga Yakuwa Katonda waffe akikkiriza, ka tutumye baganda baffe abasigaddeyo mu bitundu byonna ebya Isirayiri ne bakabona n’Abaleevi abali mu bibuga byabwe+ ebiriko amalundiro bajje batwegatteko,  tuleete Essanduuko+ ya Katonda waffe.” Kubanga baali tebagifuddeeko mu kiseera kya Sawulo.+  Ekibiina kyonna ne kikkiriza okukola bwe kityo, kubanga abantu bonna baakiraba nga kirungi.  Awo Dawudi n’akuŋŋaanya Isirayiri yonna okuva ku mugga* gw’e Misiri okutuuka e Lebo-kamasi,*+ baleete Essanduuko ya Katonda ow’amazima okuva e Kiriyasu-yalimu.+  Awo Dawudi ne Isirayiri yonna ne bagenda e Bbaala,+ e Kiriyasu-yalimu ekya Yuda, okuggyayo Essanduuko ya Katonda ow’amazima atuula waggulu wa* bakerubi,+ Essanduuko abantu we bakoowoolera erinnya lya Yakuwa.  Naye Essanduuko ya Katonda ow’amazima baagitambuliza ku kigaali ekipya+ nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu, era Uzza ne Akiyo be baali abagoba b’ekigaali.+  Dawudi ne Isirayiri yonna baali bajaganya mu maaso ga Katonda ow’amazima n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba, nga bakuba entongooli, ebivuga eby’enkoba ebirala, obugoma obutono,+ ebitaasa,+ n’amakondeere.+  Naye bwe baatuuka ku gguuliro lya Kidoni, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata Essanduuko kubanga ente zaali zigenda kugisuula. 10  Awo obusungu bwa Yakuwa ne bubuubuukira Uzza, n’amutta kubanga yagolola omukono gwe okukwata Essanduuko;+ n’afiira awo mu maaso ga Katonda.+ 11  Dawudi n’asunguwala* olw’okuba obusungu bwa Yakuwa bwali bubuubuukidde Uzza; ekifo ekyo ne kituumibwa Pereezi-uzza n’okutuusa leero. 12  Dawudi n’atya Katonda ow’amazima ku lunaku olwo, n’agamba nti: “Nnyinza ntya okutwala Essanduuko ya Katonda ow’amazima gye mbeera?”+ 13  Essanduuko Dawudi n’atagitwala gye yali abeera mu Kibuga kya Dawudi, naye n’agitwala mu nnyumba ya Obedi-edomu Omugitti. 14  Essanduuko ya Katonda ow’amazima n’ebeera n’ab’ennyumba ya Obedi-edomu. N’ebeera mu nnyumba ye okumala emyezi esatu; Yakuwa n’awa omukisa ab’ennyumba ya Obedi-edomu ne byonna bye yalina.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okuva e Sikoli.”
Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “wakati wa.”
Oba, “n’anakuwala.”