1 Ebyomumirembe Ekisooka 17:1-27

  • Dawudi agaanibwa okuzimba yeekaalu (1-6)

  • Endagaano ey’obwakabaka (7-15)

  • Essaala ya Dawudi ey’okwebaza (16-27)

17  Dawudi olwali okukkalira mu nnyumba ye,* n’agamba nnabbi Nasani+ nti: “Laba, nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolokyo+ naye essanduuko ey’endagaano ya Yakuwa eri mu weema.”+  Nasani n’agamba Dawudi nti: “Kola kyonna ekiri mu mutima gwo, kubanga Katonda ow’amazima ali naawe.”  Ekiro ekyo Katonda n’agamba Nasani nti:  “Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Si ggwe ojja okunzimbira ennyumba ey’okubeeramu.+  Kubanga sibeerangako mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya Isirayiri e Misiri n’okutuusa leero, naye mbaddenga mbeera mu weema era mbaddenga nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala.+  Ekiseera kyonna kye mmaze nga ntambula ne Isirayiri yonna, waliwo omulamuzi wa Isirayiri yenna gwe nnalonda okulunda abantu bange, gwe nnali ŋŋambye nti, ‘Lwaki temunzimbidde nnyumba ey’emiti gy’entolokyo?’”’  “Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: “Nnakuggya ku ttale, olekere awo okulunda endiga ofuuke omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.+  Nja kubeeranga naawe buli gy’onoogendanga,+ era nja kuzikiriza abalabe bo bonna bave mu maaso go.+ Ate era erinnya lyo nja kulifuula kkulu, era ojja kuba omu ku bantu abamanyifu ennyo mu nsi.+  Nja kulondera abantu bange Isirayiri ekifo mbateeke omwo, era bajja kubeeranga omwo. Tebajja kuddamu kutawaanyizibwa, era abantu ababi tebajja kuddamu kubabonyaabonya* nga bwe baakolanga edda,+ 10  okuva ku lunaku lwe nnassaawo abalamuzi okukulembera abantu bange Isirayiri.+ Nja kuwangula abalabe bo bonna,+ era nkugamba nti, ‘Yakuwa ajja kukuzimbira ennyumba.’* 11  “‘“Bw’olifa n’ogenda okubeera awamu ne bajjajjaabo, ndissaawo ezzadde lyo eririkuddirira, omu ku baana bo,+ era ndinyweza obwakabaka bwe.+ 12  Oyo y’alinzimbira ennyumba+ era ndinyweza entebe y’obwakabaka bwe emirembe n’emirembe.+ 13  Ndiba kitaawe, era naye aliba mwana wange;+ sirimuggyako kwagala kwange okutajjulukuka+ nga bwe nnakuggya ku oyo eyakusookawo.+ 14  Ndimuyimiriza mu nnyumba yange ne mu bwakabaka bwange emirembe n’emirembe,+ era entebe ye ey’obwakabaka eribeerawo emirembe n’emirembe.”’”+ 15  Awo Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo ebyo byonna n’okwolesebwa okwo kwonna. 16  Awo Kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Yakuwa n’agamba nti: “Nze ani, Ai Yakuwa Katonda? Era ennyumba yange kye ki ggwe okunkolera bino byonna?+ 17  Tokomye ku ekyo, Ai Katonda, naye oyogedde ne ku nnyumba y’omuweereza wo bw’eneeba ne mu biseera eby’omu maaso eyo,+ era ontutte ng’omuntu ow’ekitiibwa ennyo, Ai Yakuwa Katonda. 18  Kiki ekirala omuweereza wo Dawudi ky’ayinza okwogera ku kitiibwa ky’ompadde, ng’ate omanyi bulungi omuweereza wo?+ 19  Ai Yakuwa, ku lw’omuweereza wo, era nga bw’osiimye, okoze ebintu bino byonna eby’ekitalo ng’oyolesa obukulu bwo.+ 20  Ai Yakuwa, tewali alinga ggwe,+ era teri Katonda okuggyako ggwe;+ ebyo byonna bye tuwulidde n’amatu gaffe bikakasa kino. 21  Ggwanga ki eddala ku nsi eriringa abantu bo Isirayiri?+ Ggwe Katonda ow’amazima wagenda n’obanunula+ n’obafuula abantu bo. Weekolera erinnya ng’okola ebikolwa eby’ekitalo era eby’entiisa,+ bwe wagoba amawanga mu maaso g’abantu bo+ be wanunula n’obaggya mu Misiri. 22  Abayisirayiri wabafuula bantu bo emirembe n’emirembe,+ era ggwe, Ai Yakuwa, wafuuka Katonda waabwe.+ 23  Kaakano Ai Yakuwa, ekyo ky’osuubizza omuweereza wo n’ennyumba ye ka kibeere bwe kityo emirembe n’emirembe, era okole nga bw’osuubizza.+ 24  Erinnya lyo ka libeerengawo era ligulumizibwe+ emirembe n’emirembe, abantu balyoke bagambe nti, ‘Yakuwa ow’eggye, Katonda wa Isirayiri, ye Katonda eri Isirayiri,’ era ennyumba ya Dawudi omuweereza wo k’enywezebwe mu maaso go.+ 25  Kubanga ggwe Katonda wange obikkulidde omuweereza wo ekigendererwa kyo eky’okumuzimbira ennyumba.* Eno ye nsonga lwaki omuweereza wo akusaba nga mugumu. 26  Ai Yakuwa, ye ggwe Katonda ow’amazima, era osuubizza omuweereza wo ebintu bino ebirungi. 27  N’olwekyo wa ennyumba y’omuweereza wo omukisa, era k’ebeerewo emirembe n’emirembe mu maaso go; kubanga Ai Yakuwa ggwe ogiwadde omukisa era ejja kubeeranga n’omukisa emirembe n’emirembe.”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu lubiri lwe.”
Obut., “kubakooya.”
Oba, “obufuzi obw’ensikirano.”
Oba, “obufuzi obw’ensikirano.”