1 Ebyomumirembe Ekisooka 18:1-17

  • Obuwanguzi bwa Dawudi (1-13)

  • Entegeka y’obwakabaka bwa Dawudi (14-17)

18  Nga wayiseewo ekiseera, Dawudi yalwana n’Abafirisuuti n’abawangula, n’abawambako Gaasi+ n’obubuga obukyetoolodde.+  Yawangula ne Mowaabu,+ era Abamowaabu ne bafuuka baweereza ba Dawudi ne bamuwanga omusolo.+  Era Dawudi yalwana ne Kadadezeri+ kabaka wa Zoba+ okumpi ne Kamasi+ n’amuwangula; Kadadezeri yali agenda okugaziya amatwale ge gatuuke ku Mugga Fulaati.+  Dawudi n’amuwambako amagaali 1,000 n’abeebagazi b’embalaasi 7,000 n’abasirikale 20,000 abatambuza ebigere.+ Embalaasi zonna ezisika amagaali Dawudi n’azitema enteega, n’alekawo embalaasi 100 zokka.+  Abasuuli ab’omu Ddamasiko bwe baagenda okudduukirira Kadadezeri kabaka wa Zoba, Dawudi n’abattamu abantu 22,000.+  Oluvannyuma Dawudi n’ateeka enkambi z’abasirikale mu Busuuli omuli ekibuga Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baweereza be era ne bamuwanga omusolo. Yakuwa n’awanga Dawudi obuwanguzi* yonna gye yagendanga.+  Era Dawudi yaggya ku baweereza ba Kadadezeri engabo enneetooloovu eza zzaabu n’azitwala e Yerusaalemi.  Ate era Dawudi yaggya ekikomo kingi nnyo mu Tibukasi ne mu Kuni, ebibuga bya Kadadezeri. Ekikomo ekyo Sulemaani yakikolamu ttanka ey’ekikomo*+ n’empagi n’ebintu ebirala ebikozesebwa.+  Kabaka Toowu owa Kamasi bwe yawulira nti Dawudi yali awangudde eggye lyonna erya Kadadezeri+ kabaka wa Zoba,+ 10  amangu ago n’atuma mutabani we Kadolaamu eri Kabaka Dawudi okumubuuza bw’ali n’okumukulisa olw’okulwanyisa Kadadezeri n’amuwangula, (kubanga Kadadezeri yalwanyisanga nnyo Toowu), era yamutwalira n’ebintu ebya buli kika ebya zzaabu ne ffeeza n’ekikomo. 11  Ebyo nabyo Kabaka Dawudi yabiwaayo* eri Yakuwa+ awamu ne ffeeza ne zzaabu bye yali aggye mu mawanga gonna: mu Edomu, mu Mowaabu, mu Baamoni,+ mu Bafirisuuti,+ ne mu Bamaleki.+ 12  Abisaayi+ mutabani wa Zeruyiya+ yatta Abeedomu 18,000 mu Kiwonvu ky’Omunnyo,+ 13  n’ateeka enkambi z’abasirikale mu Edomu, era Abeedomu bonna ne bafuuka baweereza ba Dawudi.+ Yakuwa n’awanga Dawudi obuwanguzi* yonna gye yagendanga.+ 14  Dawudi n’afuga Isirayiri yonna,+ era n’alamulanga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu butuukirivu.+ 15  Yowaabu mutabani wa Zeruyiya ye yali omukulu w’eggye;+ Yekosafaati+ mutabani wa Akirudi ye yawandiikanga ebyabangawo. 16  Zadooki mutabani wa Akitubu ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali be baali bakabona; Savusa ye yali omuwandiisi. 17  Benaya mutabani wa Yekoyaada ye yali akulira Abakeresi+ n’Abaperesi;+ ate batabani ba Dawudi be baali abakungu ab’oku ntikko.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “obulokozi.”
Obut., “Ennyanja ey’ekikomo.”
Oba, “yabitukuza.”
Oba, “obulokozi.”