1 Ebyomumirembe Ekisooka 20:1-8

  • Labba kiwambibwa (1-3)

  • Abafirisuuti abawagguufu battibwa (4-8)

20  Ku ntandikwa y’omwaka, ekiseera bakabaka we bagendera okutabaala, Yowaabu+ yakulembera amagye n’ayonoonayonoona ensi y’Abaamoni, era n’azingiza Labba+ nga Dawudi asigadde e Yerusaalemi;+ Yowaabu yalwanyisa Labba n’akizikiriza.+  Oluvannyuma Dawudi yaggya engule ku mutwe gwa Malukamu,* era n’akisanga nti engule eyo yali ezitowa ttalanta* emu eya zzaabu; yalimu amayinja ag’omuwendo era yateekebwa ku mutwe gwa Dawudi. Ate era Dawudi yaggya omunyago mungi nnyo mu kibuga.+  Abantu abaakirimu yabaggyamu n’abakozesa emirimu+ egy’okusala amayinja n’emirimu egyetaagisa okukozesa ebintu ebyogi eby’ekyuma n’embazzi; bw’atyo Dawudi bwe yakola mu bibuga byonna eby’Abaamoni. Oluvannyuma Dawudi n’abasirikale bonna baddayo e Yerusaalemi.  Oluvannyuma lw’ebyo, waabalukawo olutalo e Gezeri wakati w’Abayisirayiri n’Abafirisuuti. Sibbekayi+ Omukusa n’atta Sippayi, omu ku bazzukulu b’Abaleefa,+ Abafirisuuti ne bawangulwa.  Awo ne wabaawo nate olutalo n’Abafirisuuti; Erukanani mutabani wa Yayiri n’atta Lakami muganda wa Goliyaasi+ Omugitti. Olunyago lw’effumu lya Lakami lwali ng’omuti okulukirwa engoye.+  Awo ne wabaawo nate olutalo mu Gaasi,+ era waaliyo omusajja omuwagguufu ennyo+ eyalina engalo 6 ku buli mukono n’obugere 6 ku buli kigere, nga byonna awamu biri 24; oyo naye yali muzzukulu w’Abaleefa.+  Yasoomoozanga+ Isirayiri, naye Yonasaani mutabani wa Simeeya+ muganda wa Dawudi n’amutta.  Abo baali bazzukulu b’Abaleefa+ abaali mu Gaasi,+ era battibwa Dawudi n’abaweereza be.

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku 2Sa 12:30.
Kilo nga 34.2. Laba Ebyong. B14.