1 Ebyomumirembe Ekisooka 22:1-19

  • Dawudi akola enteekateeka ez’okuzimba yeekaalu (1-5)

  • Dawudi awa Sulemaani obulagirizi (6-16)

  • Abaami balagirwa okuyamba Sulemaani (17-19)

22  Awo Dawudi n’agamba nti: “Wano we wanaabeera ennyumba ya Yakuwa Katonda ow’amazima, era wano we wanaabeera ekyoto kya Isirayiri eky’ebiweebwayo ebyokebwa.”+  Awo Dawudi n’alagira ne bakuŋŋaanya abagwira+ abaali mu nsi ya Isirayiri, n’abawa ogw’okutema amayinja, bateme amayinja ag’okuzimba ennyumba ya Katonda ow’amazima.+  Era Dawudi n’ategekawo ekyuma kingi nnyo eky’okukolamu emisumaali egy’enzigi n’ebigatta, era n’ategekawo n’ekikomo kingi nnyo nga tekisobola na kupimibwa,+  n’embaawo z’emiti gy’entolokyo+ nga tezisobola kubalibwa; kubanga Abasidoni+ n’Abatuulo+ baaleetera Dawudi embaawo z’emiti gy’entolokyo nnyingi nnyo.  Awo Dawudi n’agamba nti: “Sulemaani mutabani wange akyali muto era talina bumanyirivu,+ ng’ate ennyumba egenda okuzimbirwa Yakuwa egenda kuba matiribona,+ ekitiibwa kyayo n’obulungi bwayo+ bisobole okumanyibwa mu nsi zonna.+ N’olw’ensonga eyo ka mmutegekere.” Bw’atyo Dawudi n’ategeka ebintu bingi nnyo nga tannafa.  Era yayita Sulemaani mutabani we n’amulagira okuzimbira Yakuwa Katonda wa Isirayiri ennyumba.  Dawudi n’agamba Sulemaani mutabani we nti: “Omutima gwange gwali gwagala okuzimba ennyumba ey’erinnya lya Yakuwa Katonda wange.+  Naye ekigambo kya Yakuwa kyanzijira nga kigamba nti, ‘Oyiye omusaayi mungi nnyo era olwanye entalo ez’amaanyi. Tojja kuzimbira linnya lyange+ nnyumba kubanga oyiye omusaayi mungi nnyo ku nsi mu maaso gange.  Laba, ojja kuzaala omwana ow’obulenzi+ ajja okuba omusajja ow’emirembe, era nja kumuwa ekiwummulo nga mmuwonya abalabe be bonna ku njuyi zonna;+ ajja kuyitibwa Sulemaani,*+ era mu nnaku ze ndiwa Isirayiri emirembe n’obutebenkevu.+ 10  Oyo y’ajja okuzimbira erinnya lyange ennyumba.+ Ajja kuba mwana wange, nange nja kuba kitaawe.+ Nja kunyweza entebe y’obwakabaka bwe ku Isirayiri emirembe gyonna.’+ 11  “Kaakano mwana wange, Yakuwa k’abeere naawe era buli kimu kikugendere bulungi ozimbe ennyumba ya Yakuwa Katonda wo nga bwe yakwogerako.+ 12  Yakuwa akuwe amagezi n’okutegeera+ bw’anaakuwa obuyinza ku Isirayiri, osobole okukwata amateeka ga Yakuwa Katonda wo.+ 13  Ojja kutuuka ku buwanguzi bw’onoofuba okukwata ebiragiro n’amateeka+ Yakuwa bye yalagira Musa okuwa Isirayiri.+ Beera muvumu era beera wa maanyi. Totya era totekemuka.+ 14  Laba nze nfubye nga bwe nsobola ne ntegekera ennyumba ya Yakuwa ttalanta* za zzaabu 100,000 ne ttalanta za ffeeza 1,000,000 n’ekikomo n’ekyuma+ ebitasobola kupimibwa olw’obungi bwabyo; era ntegese n’embaawo n’amayinja,+ naye ojja kubyongerako. 15  Era olina abakozi bangi nnyo—abatemi b’amayinja, abazimbi abazimbisa amayinja,+ ababazzi, n’abalina obumanyirivu mu kukola emirimu egya buli kika.+ 16  Zzaabu, ffeeza, ekikomo, n’ekyuma tebisobola kubalibwa.+ Situka otandike okukola omulimu, era Yakuwa k’abeere naawe.”+ 17  Era Dawudi n’alagira abaami bonna aba Isirayiri okuyamba Sulemaani mutabani we ng’agamba nti: 18  “Yakuwa Katonda wammwe tali nammwe, era tabawadde kiwummulo okwetooloola wonna? Awaddeyo gye ndi abatuuze b’omu nsi, era ensi ewanguddwa mu maaso ga Yakuwa ne mu maaso g’abantu be. 19  Mumalirire n’omutima gwammwe gwonna n’obulamu bwammwe bwonna okunoonya Yakuwa Katonda wammwe,+ era mutandike okuzimba ekifo ekitukuvu ekya Yakuwa Katonda ow’amazima,+ musobole okuleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa n’ebintu ebitukuvu ebya Katonda ow’amazima+ mu nnyumba y’erinnya lya Yakuwa egenda okuzimbibwa.”+

Obugambo Obuli Wansi

Liva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza, “Emirembe.”
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.