1 Ebyomumirembe Ekisooka 4:1-43
4 Abaana ba Yuda be bano: Pereezi,+ Kezulooni,+ Kalumi, Kuli,+ ne Sobali.+
2 Leyaya mutabani wa Sobali yazaala Yakasi, Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Ezo ze mpya z’Abazolasi.+
3 Bano be baana ba kitaawe wa Etamu:+ Yezuleeri, Isuma, Idubasi, (mwannyinaabwe yali Kazzereruponi),
4 Penuweri yazaala Gedoli. Ate Ezeri yazaala Kusa. Abo be baali abaana ba Kuli omubereberye wa Efulaasi; Kuli+ ye kitaawe wa Besirekemu.+
5 Asukuli+ kitaawe wa Tekowa+ yalina abakazi babiri, Keera ne Naala.
6 Naala yamuzaalira Akuzzamu, Keferi, Temeni, ne Kaakasutali. Abo be baali abaana ba Naala.
7 Abaana ba Keera be bano: Zeresi, Izukali, ne Esunani.
8 Koozi yazaala Anubu ne Zobeba n’ab’empya za Akalukeri mutabani wa Kalumu.
9 Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be; nnyina ye yamutuuma erinnya Yabezi,* ng’agamba nti: “Mmuzaalidde mu bulumi.”
10 Yabezi yakoowoola Katonda wa Isirayiri, n’agamba nti: “Singa nno ompa omukisa n’ogaziya ekitundu kyange era omukono gwo ne guba nange, n’onkuuma ne situukibwako kabi!” Bw’atyo Katonda n’amuwa kye yasaba.
11 Kerubu muganda wa Suwa yazaala Mekiri kitaawe wa Esutoni.
12 Esutoni yazaala Besu-lafa, Paseya, ne Tekina kitaawe wa Iru-nakasi. Abo be baali abasajja b’e Leka.
13 Abaana ba Kenazi be bano: Osuniyeri+ ne Seraya; omwana* wa Osuniyeri yali Kasasi.
14 Myonosaayi yazaala Ofula. Seraya yazaala Yowaabu kitaawe w’abantu b’e Gekalasimu* abaali bakola emirimu gy’emikono.
15 Abaana ba Kalebu+ mutabani wa Yefune be bano: Iru, Ela, ne Naamu; omwana* wa Ela yali Kenazi.
16 Abaana ba Yekalereri be bano: Zifu, Zifa, Tiriya, ne Asaleri.
17 Abaana ba Ezula be bano: Yeseri, Meredi, Eferi, ne Yaloni; mukazi we* yazaala Miriyamu, Sammayi, ne Isuba kitaawe wa Esutemowa.
18 (Mukazi wa Meredi Omuyudaaya yazaala Yeredi kitaawe wa Gedoli ne Keberi kitaawe wa Soko ne Yekusiyeri kitaawe wa Zanowa.) Bano be baali abaana ba Bisiya muwala wa Falaawo Meredi gwe yawasa.
19 Abaana ba mukazi wa Kodiya mwannyina wa Nakamu be bano: kitaawe wa Keyira Omugalumi ne Esutemowa Omumaakasi.
20 Abaana ba Simoni be bano: Amunoni ne Linna ne Beni-kanani ne Tironi. Abaana ba Isi be bano: Zokesi ne Beni-zokesi.
21 Abaana ba Seera+ mutabani wa Yuda be bano: Eli kitaawe wa Leka ne Laada kitaawe wa Malesa n’ab’empya z’abakozi b’engoye ennungi ab’ennyumba ya Asubeya;
22 ne Yokimu n’abasajja b’e Kozeba ne Yowaasi ne Salafu, abaawasa abakazi Abamowaabu, ne Yasubirekemu. Bino byaggibwa mu biwandiiko eby’edda.
23 Abo baali babumbi abaabeeranga mu Netayimu ne mu Gedera. Baabeeranga eyo nga bakolera kabaka.
24 Abaana ba Simiyoni+ be bano: Nemweri, Yamini, Yalibu, Zeera, ne Sawuli.+
25 Sawuli yazaala Salumu, Salumu n’azaala Mibusamu, Mibusamu n’azaala Misuma.
26 Abaana ba Misuma be bano: Kammweri. Kammweri yazaala Zakkuli, Zakkuli n’azaala Simeeyi.
27 Simeeyi yalina abaana ab’obulenzi 16 n’ab’obuwala 6; naye baganda be tebaazaala baana bangi, era tewali luggya lwabwe na lumu lwalina baana bangi ng’abaana ba Yuda.+
28 Baabeeranga mu Beeru-seba+ ne mu Molada+ ne mu Kazalu-suwali+
29 ne mu Biruka ne mu Ezemu+ ne mu Toladi
30 ne mu Besweri+ ne mu Koluma+ ne mu Zikulagi+
31 ne mu Besu-malukabosi ne mu Kazalu-susimu+ ne mu Besu-biri ne mu Saalayimu. Ebyo bye byali ebibuga byabwe okutuukira ddala mu kiseera ky’obufuzi bwa Dawudi.
32 Ebifo bye baabeerangamu bye bino: Etamu, Ayini, Limmoni, Tokeni, ne Asani,+ ebibuga bitaano,
33 awamu n’ebyalo byabwe ebyali byetoolodde ebibuga ebyo ebyali bituukira ddala e Bbaali. Ezo ze nkalala z’obuzaale bwabwe era n’ebifo mwe baabeeranga.
34 Bazzukulu ba Simiyoni abalala be bano: Mesobabu, Yamuleki, ne Yosa mutabani wa Amaziya,
35 ne Yoweeri ne Yeeku mutabani wa Yosibiya mutabani wa Seraya mutabani wa Asiyeri,
36 ne Eriwenayi ne Yaakoba ne Yesokaya ne Asaya ne Adyeri ne Yesimiyeri ne Benaya,
37 ne Ziza mutabani wa Sifi mutabani wa Aloni mutabani wa Yedaya mutabani wa Simuli mutabani wa Semaaya.
38 Abo abamenyeddwa amannya baali baami mu mpya zaabwe, era ennyumba za bajjajjaabwe zeeyongera okwala.
39 Baagenda awayingirirwa e Gedoli, ku luuyi lw’ebuvanjuba w’ekiwonvu nga banoonyeza ebisolo byabwe omuddo.
40 Oluvannyuma baazuula awaali omuddo omugimu era omulungi, era n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era ng’etebenkedde. Abantu abaagibeerangamu mu biseera eby’edda baali Bakaamu.+
41 Mu nnaku za Keezeekiya+ kabaka wa Yuda, abo abaawandiikibwa amannya baagenda ne basaanyaawo weema z’Abakaamu era n’Abamewuni abaali babeerayo. Baabasaanyizaawo ddala nga bwe kyeyoleka ne leero, ne badda mu kifo kyabwe kubanga waaliyo omuddo ogw’okuliisa ebisibo byabwe.
42 Waliwo abamu ku Basimiyoni, abasajja 500, abaagenda ku lusozi Seyiri,+ nga bakulembeddwa Peratiya ne Neyaliya ne Lefaya ne Wuziyeeri, batabani ba Isi.
43 Batta Abamaleki+ abaali bawonyeewo, era eyo gye babeera n’okutuusa leero.
Obugambo Obuli Wansi
^ Erinnya Yabezi liyinza okuba nga lirina akakwate n’ekigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza “obulumi.”
^ Obut., “abaana.”
^ Kitegeeza, “Ekiwonvu ky’Abo Abakola Emirimu gy’Emikono.”
^ Obut., “abaana.”
^ Ono ayinza okuba nga ye Bisiya ayogerwako mu lunyiriri 18.