1 Ebyomumirembe Ekisooka 7:1-40

  • Abaana ba Isakaali (1-5), aba Benyamini (6-12), aba Nafutaali (13), aba Manase (14-19), aba Efulayimu (20-29), n’aba Aseri (30-40)

7  Abaana ba Isakaali be bano: Tola, Puwa, Yasubu, ne Simuloni;+ baali bana.  Abaana ba Tola be bano: Uzzi, Lefaya, Yeryeri, Yamayi, Ibusamu, ne Semweri; baali bakulu ba nnyumba za bakitaabwe. Mu lunyiriri lwa Tola mwalimu abalwanyi ab’amaanyi. Mu kiseera kya Dawudi baali 22,600.  Bano be baava mu* Uzzi: Izulakiya; abaana ba Izulakiya be bano: Mikayiri, Obadiya, Yoweeri, Issiya; baali bataano—bonna abataano baali baami.  Era okusinziira ku buzaale bwabwe, okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe, baalina abasirikale 36,000 mu ggye lyabwe abaali basobola okugenda mu lutalo, kubanga baalina abakazi bangi n’abaana bangi.  Baganda baabwe ab’empya zonna eza Isakaali baali balwanyi ba maanyi; baali 87,000 nga bwe baawandiikibwa mu nkalala z’obuzaale bwabwe.+  Abaana ba Benyamini+ be bano: Bera,+ Bekeri,+ ne Yediyayeri;+ baali basatu.  Abaana ba Bera be bano: Ezuboni, Uzzi, Wuziyeeri, Yerimosi, ne Iri; baali bataano. Baali bakulu ba nnyumba za bakitaabwe, nga balwanyi ba maanyi. Era abaali ku nkalala z’obuzaale bwabwe baali 22,034.+  Abaana ba Bekeri be bano: Zemira, Yowaasi, Eriyeza, Eriwenayi, Omuli, Yeremosi, Abiya, Anasosi, ne Alemesi. Abo bonna baali baana ba Bekeri.  Okusinziira ku nkalala eziraga obuzaale bwabwe, n’abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, abalwanyi ab’amaanyi baali 20,200. 10  Abaana ba Yediyayeri+ be bano: Birukani. Abaana ba Birukani be bano: Yewusi, Benyamini, Ekudi, Kenaana, Zesani, Talusiisi, ne Akisakali. 11  Abo bonna be baana ba Yediyayeri ng’abakulu b’ennyumba za bajjajjaabwe bwe baali, abalwanyi ab’amaanyi 17,200 abaagendanga mu magye okulwana. 12  Abasuppimu n’Abakuppimu* baali baana ba Iri;+ Abakusimu baali baana ba Akeri. 13  Abaana ba Nafutaali+ be bano: Yaziyeri, Guni, Yezeri, ne Salumu. Abo baali bazzukulu* ba Biruka.+ 14  Abaana ba Manase+ be bano: Asuliyeri, omuzaana we Omusuuli gwe yamuzaalira. (Omuzaana we yazaala Makiri+ kitaawe wa Gireyaadi. 15  Makiri yafunira Kuppimu ne Suppimu abakazi, era mwannyina yali ayitibwa Maaka.) Ow’okubiri yali ayitibwa Zerofekaadi, naye Zerofekaadi+ yazaala baana bawala bokka.+ 16  Oluvannyuma Maaka mukazi wa Makiri yazaala omwana ow’obulenzi n’amutuuma Peresi; muganda we yali ayitibwa Seresi; era abaana be be bano: Ulamu ne Lekemu. 17  Omwana* wa Ulamu yali Bedani. Abo be baana ba Gireyaadi mutabani wa Makiri mutabani wa Manase. 18  Mwannyina wa Gireyaadi yali Kammolekesi. Yazaala Isukodi, Abi-yezeri, ne Makula. 19  Abaana ba Semida be bano: Akiyani, Sekemu, Liki, ne Aniyamu. 20  Abaana ba Efulayimu+ be bano: Susera.+ Susera yazaala Beredi, Beredi n’azaala Takasi, Takasi n’azaala Ereyada, Ereyada n’azaala Takasi, 21  Takasi n’azaala Zabadi, Zabadi n’azaala Susera. Efulayimu yazaala ne Ezeri ne Ereyadi. Abasajja enzaalwa z’e Gaasi+ baabatta kubanga baagenda okutwala ensolo zaabwe. 22  Kitaabwe Efulayimu yabakungubagira okumala ennaku nnyingi, era baganda be ne bajjanga okumubudaabuda. 23  Oluvannyuma yeegatta ne mukazi we, mukazi we n’aba olubuto n’azaala omwana ow’obulenzi. Efulayimu n’amutuuma Beriya,* kubanga mukazi we we yamuzaalira akabi kaali kagudde mu nnyumba ye. 24  Muwala we yali ayitibwa Seera, era ye yazimba Besu-kolooni ow’Ekyemanga+ n’ow’eky’Engulu,+ ne Uzenuseera. 25  Ne Leefa yali mwana we era ne Lesepu. Lesepu yazaala Teera, Teera n’azaala Takani, 26  Takani n’azaala Ladani, Ladani n’azaala Ammikudi, Ammikudi n’azaala Erisaama, 27  Erisaama n’azaala Nuuni, Nuuni n’azaala Yoswa.*+ 28  Obutaka bwabwe n’ebifo byabwe bye baabeerangamu bye bino: Beseri+ n’obubuga obukyetoolodde; ebuvanjuba waaliyo Naalani, ate ebugwanjuba waaliyo Gezeri n’obubuga obukyetoolodde, ne Sekemu n’obubuga obukyetoolodde, okutuukira ddala e Aya* n’obubuga obukyetoolodde; 29  ku nsalo y’abazzukulu ba Manase waaliyo Besu-seyani+ n’obubuga obukyetoolodde, Taanaki+ n’obubuga obukyetoolodde, Megiddo+ n’obubuga obukyetoolodde, ne Doli+ n’obubuga obukyetoolodde. Omwo bazzukulu ba Yusufu mutabani wa Isirayiri mwe baabeeranga. 30  Batabani ba Aseri be bano: Imuna, Isuva, Isuvi, ne Beriya;+ mwannyinaabwe yali ayitibwa Seera.+ 31  Batabani ba Beriya be bano: Keberi ne Malukiyeeri kitaawe wa Biruzayisi. 32  Keberi yazaala Yafuleti ne Someri ne Kosamu ne Suwa mwannyinaabwe. 33  Abaana ba Yafuleti be bano: Pasaki, Bimukali, ne Asuvasi. Abo be baali abaana ba Yafuleti. 34  Abaana ba Semeri* be bano: Aki, Loga, Yekubba, ne Alamu. 35  Abaana ba Keremu* muganda we be bano: Zofa, Imuna, Seresi, ne Amali. 36  Abaana ba Zofa be bano: Suwa, Kaluneferi, Swali, Beri, Imula, 37  Bezeri, Kodi, Samma, Sirusa, Isulani, ne Beera. 38  Abaana ba Yeseri be bano: Yefune, Pisupa, ne Ala. 39  Abaana ba Ula be bano: Ala, Kaniyeri, ne Liziya. 40  Abo bonna be baana ba Aseri, era baali bakulu ba nnyumba za bakitaabwe; baali basajja balondemu, balwanyi ba maanyi, era nga bakulu ba baami. Okusinziira ku nkalala z’obuzaale bwabwe,+ baalina abasajja 26,000+ mu magye abaali basobola okugenda mu lutalo.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “baana ba.”
Oba, Suppimu ne Kuppimu.
Obut., “baana.”
Obut., “Abaana.”
Litegeeza, “Mu Kabi.”
Oba, “Yekosuwa,” eritegeeza, “Yakuwa Bwe Bulokozi.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “Gaaza,” naye si Gaaza eky’omu Bufirisuuti.
Era ayitibwa Someri mu lunyiriri 32.
Kirabika ono ye “Kosamu” ayogerwako mu lunyiriri 32.