1 Peetero 3:1-22
3 Nammwe abakazi mugonderenga babbammwe,+ bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe,+
2 olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu+ n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu.
3 Era okwerungiya kwammwe kulemenga kuba kwa kungulu—okulanga enviiri n’okwambala amajolobero aga zzaabu+ oba ebyambalo eby’okungulu ebirungi—
4 naye kubeerenga kwa muntu ow’ekyama ow’omu mutima, ayambadde ekyambalo ekitayonooneka eky’omwoyo omuteefu era omuwombeefu,+ ogw’omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda.
5 Kubanga n’abakazi ab’edda abatukuvu abaasuubiriranga mu Katonda bwe batyo bwe beerungiyanga nga bagondera babbaabwe,
6 nga Saala bwe yagonderanga Ibulayimu ng’amuyita mukama we.+ Era muba baana be kasita muba nga mukola bulungi era nga temukkiriza kintu kyonna kubatiisa.+
7 Nammwe abaami, mubeeranga ne bakazi bammwe nga mubategeera bulungi,* nga mubassaamu ekitiibwa+ ng’ekibya ekinafu kubanga nabo basika bannammwe+ ab’ekisa eky’ensusso eky’obulamu, okusaba kwammwe kuleme okuziyizibwa.
8 Eky’enkomerero, mmwenna mubeere n’endowooza emu,+ buli omu alumirirwe munne, mwagalane ng’ab’oluganda, musaasiragane,+ era mube beetoowaze.+
9 Temukola muntu kibi olw’okuba abakoze ekibi+ era temuvuma oyo aba abavumye,+ naye mwogere naye bulungi,*+ kubanga ekyo kye mwayitirwa musobole okufuna* omukisa.
10 “Oyo ayagala obulamu n’okubeera omusanyufu, aziyizenga olulimi lwe okwogera ebintu ebibi+ n’emimwa gye okwogera eby’obulimba.
11 Yeewale ebibi+ akolenga ebirungi;+ anoonyenga emirembe era agigobererenga.+
12 Kubanga amaaso ga Yakuwa* gali ku batuukirivu, n’amatu ge gawulira okwegayirira kwabwe,+ naye Yakuwa* yeesambira ddala abo abakola ebintu ebibi.”+
13 Ddala muntu ki anaabakolako akabi bwe muba nga munyiikirira okukola ebirungi?+
14 Kyokka ne bwe mubonaabona olw’okukola eby’obutuukirivu muba basanyufu.+ Naye ebyo bye batya temubityanga* era temweraliikiriranga.+
15 Naye mutukuzenga Kristo nga Mukama wammwe mu mitima gyammwe, nga bulijjo muba beetegefu okuddamu buli muntu ababuuza ebikwata ku ssuubi lyammwe, kyokka nga mukikola n’obukkakkamu+ era nga mumussaamu ekitiibwa.+
16 Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi+ wadde nga baboogerako bubi, abo ababoogerako obubi balyoke baswale+ olw’empisa ennungi ze mwoleka ng’abagoberezi ba Kristo.+
17 Kubanga kirungi okubonaabona olw’okukola ebirungi,+ Katonda bw’aba ng’akikkirizza, okusinga okubonaabona olw’okukola ebintu ebibi.+
18 Ne Kristo omutuukirivu yafa omulundi gumu olw’ebibi+ by’abantu abatali batuukirivu+ asobole okubaleeta eri Katonda.+ Yattibwa mu mubiri+ naye n’afuulibwa mulamu mu mwoyo.+
19 Ng’ali mu mbeera eyo, yagenda n’abuulira emyoyo egiri mu kkomera,+
20 egyajeema Katonda bwe yali ng’alindirira n’obugumiikiriza* mu kiseera kya Nuuwa,+ eryato bwe lyali lizimbibwa,+ era mu lyato eryo abantu batono, kwe kugamba, abantu munaana, mwe baawonyezebwa amazzi.+
21 Ekyo ekifaanana n’ekyo kaakano kibalokola, nga kuno kwe kubatizibwa (si kuggyawo obucaafu bw’omubiri, wabula okusaba Katonda tusobole okuba n’omuntu ow’omunda omulungi),+ okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo.
22 Ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ kubanga yagenda mu ggulu; era bamalayika n’ab’obuyinza n’ab’amaanyi baateekebwa wansi we.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “nga mubabalirira.”
^ Obut., “mumuwe omukisa.”
^ Obut., “okusikira.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “temutya kutiisatiisa kwabwe.”
^ Obut., “obugumiikiriza bwa Katonda bwe bwali nga bulindirira.”