1 Peetero 4:1-19
4 Okuva Kristo bwe yabonaabona mu mubiri,+ nammwe mubeere n’endowooza ng’eyiye;* kubanga omuntu abonyeebonye mu mubiri aba alekedde awo okukola ebibi,+
2 alyoke amale ekiseera kyonna ky’aba asigazzaayo ng’ali mu mubiri ng’akola ebyo Katonda by’ayagala+ so si ebyo abantu bye beegomba.+
3 Kubanga ekiseera ekyayita kyabamala okukola ebyo amawanga bye gaagala,+ bwe mwatambuliranga mu bikolwa eby’obugwagwa,* mu kwegomba okubi awatali kwekomako, mu kwekamirira omwenge, mu binyumu, mu kunywa omwenge mu ngeri ey’okuvuganya, ne mu kusinza ebifaananyi okw’obujeemu.+
4 Basoberwa olw’okuba temukyatambulira wamu nabo mu mpisa zaabwe embi ennyo, era babavuma.+
5 Naye abantu bano bajja kuwoza eri oyo agenda okulamula abalamu n’abafu.+
6 Mu butuufu, eyo ye nsonga lwaki amawulire amalungi gaabuulirwa n’abafu,+ kibe nti, wadde nga balamulwa mu mubiri okusinziira ku ndowooza y’abantu, babe balamu nga bakulemberwa omwoyo gwa Katonda.
7 Naye enkomerero ya byonna esembedde. N’olwekyo, mubeere n’endowooza ennuŋŋamu,+ era mubeere bulindaala ku bikwata ku kusaba.+
8 N’okusinga byonna, mwagalanenga nnyo,+ kubanga okwagala kubikka ku bibi bingi.+
9 Musembezeganyenga awatali kwemulugunya.+
10 Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu.+
11 Omuntu yenna bw’ayogera, ayogere obubaka obuva eri Katonda; omuntu yenna bw’aweereza, aweereze nga yeesigama ku maanyi Katonda g’agaba;+ Katonda alyoke agulumizibwe mu bintu byonna+ okuyitira mu Yesu Kristo. Ekitiibwa n’amaanyi bibye emirembe n’emirembe. Amiina.
12 Abaagalwa, temwewuunya olw’okugezesebwa okulinga omuliro okubatuukako,+ nga gy’obeera nti waliwo ekintu ekitali kya bulijjo ekibatuuseeko.
13 Wabula musanyukenga+ olw’okugabana ku kubonaabona kwa Kristo,+ ekitiibwa kye bwe kiribikkulwa+ mulyoke musanyuke era mujaguze.
14 Bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo muba basanyufu,+ kubanga omwoyo ogw’ekitiibwa, omwoyo gwa Katonda, guli ku mmwe.
15 Naye waleme kubaawo n’omu ku mmwe abonaabona olw’okuba omutemu, oba omubbi, oba omukozi w’ebintu ebibi, oba olw’okweyingiza mu nsonga z’abalala.+
16 Kyokka singa omuntu abonaabona olw’okuba Omukristaayo, alemenga kukwatibwa nsonyi+ wabula agulumizenga Katonda ng’atambulira mu bulamu obw’Ekikristaayo.
17 Ekiseera kituuse omusango okusalibwa nga gutandikira mu nnyumba ya Katonda.+ Bwe gutandikira ku ffe,+ ate kinaaba kitya eri abo abatagondera mawulire ga Katonda amalungi?+
18 “Era bwe kiba nga si kyangu omuntu omutuukirivu okulokolebwa, kiki ekirituuka ku mwonoonyi n’oyo atatya Katonda?”+
19 Kale abo ababonaabona olw’okukola Katonda by’ayagala beeyongere okwekwasa Omutonzi omwesigwa nga bakola ebirungi.+