1 Samwiri 19:1-24
19 Oluvannyuma Sawulo yayogera ne mutabani we Yonasaani n’abaweereza be bonna ku ky’okutta Dawudi.+
2 Olw’okuba Yonasaani mutabani wa Sawulo yali ayagala nnyo Dawudi,+ yamugamba nti: “Sawulo kitange ayagala kukutta. Nkwegayiridde enkya ku makya beera mwegendereza, weekweke mu kifo ekyekusifu osigale eyo.
3 Nja kugenda nnyimirire kumpi ne kitange ku ttale gy’onooba oli. Nja kubuulira kitange ebikukwatako, era bwe nnaabaako kye mmanya nja kukikubuulira.”+
4 Yonasaani yayogera bulungi ku Dawudi+ eri kitaawe Sawulo. Yamugamba nti: “Kabaka aleme kukola kibi kyonna ku muweereza we Dawudi, kubanga tewali kibi kye yali akukoze, era byonna by’akukoledde bikuganyudde.
5 Yateeka obulamu bwe mu kabi asobole okutta Omufirisuuti,+ Yakuwa n’awa Isirayiri yonna obuwanguzi* obw’amaanyi. Wakiraba n’osanyuka nnyo. Kale lwaki oyagala okukola akabi ku musaayi gw’omuntu atalina musango. Lwaki oyagala okutta Dawudi nga talina kibi ky’akoze?”+
6 Sawulo yawuliriza Yonasaani, era n’alayira nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu, Dawudi tajja kuttibwa.”
7 Oluvannyuma Yonasaani yayita Dawudi n’amubuulira ebintu ebyo byonna. Bw’atyo Yonasaani n’atwala Dawudi eri Sawulo, Dawudi ne yeeyongera okuweereza Sawulo nga bwe yali akola emabega.+
8 Oluvannyuma lw’ekiseera, waabalukawo olutalo nate, Dawudi n’agenda n’alwanyisa Abafirisuuti n’atta bangi nnyo, era ne bamudduka.
9 Awo omwoyo omubi okuva eri Yakuwa ne gujja ku Sawulo+ ng’atudde mu nnyumba ye ng’akutte effumu mu mukono gwe, nga ne Dawudi akuba entongooli.+
10 Sawulo n’agezaako okufumita Dawudi effumu limuyitemu likwate ekisenge, naye n’alyewoma ne likwasa ekisenge. Awo Dawudi n’adduka ekiro ekyo n’agenda.
11 Oluvannyuma Sawulo yatuma ababaka bateegere Dawudi ku nnyumba ye bamutte enkeera ku makya,+ naye Mikali mukyala wa Dawudi n’amugamba nti: “Bw’otova wano ekiro kya leero n’ogenda, enkya ojja kuba mufu.”
12 Amangu ago Mikali n’assiza Dawudi mu ddirisa, asobole okudduka agende.
13 Mikali n’addira ekifaananyi kya terafi* n’akiteeka ku kitanda, n’ateeka emitwetwe olugoye olw’akatimba olwalukibwa mu byoya by’embuzi, n’akibikkako olugoye.
14 Awo Sawulo n’atuma ababaka okukwata Dawudi, naye Mikali n’abagamba nti: “Mulwadde.”
15 Sawulo n’atuma ababaka bagende balabe Dawudi, era n’abagamba nti: “Mumundeetere ng’ali ku kitanda kye, attibwe.”+
16 Ababaka bwe baayingira, baasanga ku kitanda kuliko ekifaananyi kya terafi,* ng’emitwetwe waliyo olugoye olw’akatimba olwalukibwa mu byoya by’embuzi.
17 Awo Sawulo n’agamba Mikali nti: “Lwaki onnimbye n’oleka omulabe wange+ n’atoloka?” Mikali n’amuddamu nti: “Yaŋŋambye nti, ‘Ndeka ŋŋende, bw’otondeke nja kukutta.’”
18 Dawudi yali adduse n’agenda eri Samwiri e Laama,+ n’amubuulira byonna Sawulo bye yali amukoze. Awo Dawudi ne Samwiri ne bagenda, ne babeera e Nayosi.+
19 Oluvannyuma lw’ekiseera, Sawulo yategeezebwa nti: “Laba! Dawudi ali e Nayosi mu Laama.”
20 Amangu ago Sawulo n’atuma ababaka bakwate Dawudi. Naye bwe baalaba bannabbi abakadde nga boogera obunnabbi, era nga Samwiri ayimiridde mu maaso gaabwe era nga y’abakulembera, omwoyo gwa Katonda ne gujja ku babaka ba Sawulo, nabo ne batandika okweyisa nga bannabbi.
21 Ekyo bwe baakibuulira Sawulo, amangu ago n’atuma ababaka abalala, era nabo ne batandika okweyisa nga bannabbi. Awo Sawulo n’atuma ekibinja ky’ababaka eky’okusatu, naye nabo ne batandika okweyisa nga bannabbi.
22 Oluvannyuma Sawulo naye n’agenda e Laama. Bwe yatuuka ku luzzi olunene oluli e Seku, n’abuuza nti: “Samwiri ne Dawudi bali ludda wa?” Ne bamuddamu nti: “Bali e Nayosi+ mu Laama.”
23 Sawulo bwe yali ava eyo ng’agenda e Nayosi mu Laama, omwoyo gwa Katonda naye ne gumujjako, n’atambula nga yeeyisa nga nnabbi okutuusa lwe yatuuka e Nayosi mu Laama.
24 Yayambulamu n’ebyambalo bye naye ne yeeyisa nga nnabbi mu maaso ga Samwiri, era n’agalamira awo ng’ali bwereere* olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Eyo ye nsonga lwaki bagamba nti: “Sawulo naye ali omu ku bannabbi?”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “obulokozi.”
^ Oba, “katonda w’awaka; ekifaananyi ekisinzibwa.”
^ Oba, “katonda w’awaka; ekifaananyi ekisinzibwa.”
^ Oba, “ng’ali mu lugoye lwa munda lwokka.”