1 Timoseewo 2:1-15

  • Okusabiranga abantu aba buli ngeri (1-7)

    • Katonda omu, omutabaganya omu (5)

    • Yawaayo ekinunulo ku lwa bonna (6)

  • Okubuulirira eri abasajja n’abakazi (8-15)

    • Mwambale mu ngeri esaanira (9, 10)

2  Okusookera ddala, nkubiriza bonna okwegayiriranga, okusabanga, okusabiranga abalala, n’okwebazanga, ku lw’abantu aba buli ngeri,  bakabaka, n’abo bonna abali mu bifo ebya waggulu,*+ tusobole okubeera mu bulamu obuteefu era obw’emirembe nga twemalira ku Katonda era nga tuba beegendereza mu buli kintu.+  Kino kirungi era kikkirizibwa mu maaso g’Omulokozi waffe Katonda,+  ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa+ era bategeerere ddala amazima.  Kubanga waliwo Katonda omu,+ era n’omutabaganya+ wa Katonda n’abantu+ ali omu, Kristo Yesu,+  eyeewaayo okuba ekinunulo* ku lwa bonna*+—kino kye kijja okuweebwako obujulirwa mu kiseera kyakyo.  Olw’ekigendererwa eky’okuwa obujulirwa buno,+ nnalondebwa okuba omubuulizi era omutume+—njogera mazima, sirimba—era nnalondebwa okuba omuyigiriza w’ab’amawanga+ ku bikwata ku kukkiriza n’amazima.  N’olwekyo, njagala mu buli kifo abasajja basabenga nga bayimusizza emikono gyabwe+ mu bwesigwa, nga tebalina busungu+ era nga tebakuba mpaka.+  Mu ngeri y’emu, obulungi bw’abakazi bulemenga kubeera mu misono gya nviiri oba okwambala zzaabu oba luulu oba engoye ez’ebbeeyi, wabula bubeerenga mu kwambala ebyambalo ebisaana, ebiweesa ekitiibwa, era ebiraga nti beegendereza.*+ 10  Beekolengako mu ngeri esaanira abakazi abagamba nti bawa Katonda ekitiibwa.+ Bakolenga ebirungi, era ng’obwo bwe bulungi bwabwe. 11  Omukazi asirikenga* ng’ayiga, era abenga muwulize ddala.+ 12  Sikkiriza mukazi kuyigiriza oba okufuga omusajja, wabula asirikenga.*+ 13  Kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa oluvannyuma Kaawa naye n’atondebwa.+ 14  Era Adamu teyalimbibwa wabula omukazi ye yalimbibwa+ n’agwa mu kibi. 15  Naye omukazi ajja* kukuumibwanga okuyitira mu kuzaala,+ singa aneeyongera okuba mu kukkiriza, mu kwagala, mu butukuvu, era nga yeegendereza.*+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abali mu buyinza.”
Kitegeeza omuwendo ogwenkanankana n’ekyo ekyabula.
Oba, “lw’abantu aba buli ngeri.”
Oba, “basalawo bulungi; bategeevu.”
Oba, “abenga mukkakkamu.”
Oba, “abenga mukkakkamu.”
Obut., “abakazi bajja”
Oba, “ng’asalawo bulungi; nga mutegeevu.”