2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 25:1-28

  • Amaziya, kabaka wa Yuda (1-4)

  • Olutalo n’Abeedomu (5-13)

  • Amaziya asinza ebifaananyi (14-16)

  • Alwana ne Yekowaasi kabaka wa Isirayiri (17-24)

  • Amaziya afa (25-28)

25  Amaziya yafuuka kabaka ng’alina emyaka 25 era yafugira emyaka 29 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yekoyadaani ow’e Yerusaalemi.+  Yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, naye si na mutima gwe gwonna.  Olwali okwenywereza ku bwakabaka, n’atta abaweereza be abatta kitaawe kabaka.+  Naye abaana baabwe teyabatta, wabula yakola nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka, mu kitabo kya Musa, nga Yakuwa bwe yalagira nti: “Bataata tebattibwenga olw’ebibi by’abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga olw’ebibi bya bakitaabwe. Buli omu anattibwanga lwa kibi kye.”+  Awo Amaziya n’akuŋŋaanya Yuda n’abayimiriza okusinziira ku nnyumba za bakitaabwe, okusinziira ku bibinja by’abakulira enkumi n’abakulira ebikumi, nga bakiikiridde Yuda yonna ne Benyamini;+ n’abawandiika okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu,+ era baali abasajja 300,000 abalwanyi abatendeke* abaali ab’okuweereza mu magye, nga basobola okukozesa amafumu n’engabo ennene.  Era yapangisa okuva mu Isirayiri abalwanyi ab’amaanyi 100,000. Yabapangisa ttalanta* za ffeeza 100.  Awo ne wabaawo omusajja wa Katonda ow’amazima eyajja gy’ali n’amugamba nti: “Ai kabaka, tokkiriza ggye lya Isirayiri kugenda naawe, kubanga Yakuwa tali na Isirayiri,+ tali na Mwefulayimu yenna.  Naye genda wekka, era beera muvumu olwane olutalo. Katonda ow’amazima wa maanyi, asobola okukuyamba;+ kyokka era asobola okuleka abalabe bo ne bakuwangula.”  Awo Amaziya n’agamba omusajja wa Katonda ow’amazima nti: “Naye ate ttalanta 100 ze mpadde eggye lya Isirayiri?” Omusajja wa Katonda ow’amazima n’amugamba nti: “Yakuwa asobola okukuwa ekisingawo ennyo ku ekyo.”+ 10  Awo Amaziya n’agamba ab’eggye eryali lizze gy’ali nga bavudde mu Efulayimu bagende, n’abasiibula okuddayo ewaabwe. Kyokka ne basunguwalira nnyo Yuda, era ne baddayo ewaabwe nga basunguwavu nnyo. 11  Awo Amaziya n’alaga obuvumu n’akulembera eggye lye ne bagenda mu Kiwonvu eky’Omunnyo,+ n’atta abantu ba Seyiri 10,000.+ 12  Era abasajja ba Yuda ne bawamba abalala 10,000 nga balamu. Ne babatwala waggulu ku kagulungujjo ne babasuula wansi, bonna ne basesebbuka. 13  Naye abasajja b’eggye Amaziya be yagaana okugenda naye mu lutalo+ n’abagamba baddeyo, baalumba ebibuga bya Yuda, okuva e Samaliya+ okutuuka e Besu-kolooni,+ ne battayo abantu 3,000 era ne batwala omunyago mungi. 14  Naye Amaziya bwe yakomawo ng’ava okutta Abeedomu, yaleeta bakatonda b’abantu ba Seyiri n’abateekawo okuba bakatonda be,+ n’atandika okubavunnamira n’okubanyookerereza omukka gwa ssaddaaka. 15  Awo Yakuwa n’asunguwalira nnyo Amaziya era n’amutumira nnabbi n’amugamba nti: “Lwaki osinza bakatonda b’abantu abataasobola kuwonya bantu baabwe mu mukono gwo?”+ 16  Bwe yayogera naye, kabaka n’amugamba nti: “Twali tukulonzeeko okuba omuwabuzi wa kabaka?+ Sirika!+ Lwaki oyagala bakutte?” Awo nnabbi n’asirika, naye n’amugamba nti: “Nkimanyi nti Katonda amaliridde okukuzikiriza, olw’okuba okoze ekintu kino era towulirizza magezi ge nkuwadde.”+ 17  Oluvannyuma lw’okwebuuza ku bawabuzi be, Amaziya kabaka wa Yuda yaweereza Yekowaasi mutabani wa Yekoyakazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isirayiri obubaka, n’amugamba nti: “Jjangu tulwane.”*+ 18  Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri n’aweereza Kabaka Amaziya owa Yuda obubaka obugamba nti: “Akati ak’amaggwa akaali mu Lebanooni kaaweereza omuti gw’entolokyo ogwali mu Lebanooni obubaka obugamba nti, ‘Muwala wo muwe mutabani wange amuwase.’ Kyokka, ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni n’eyitawo n’erinnyirira akati ak’amaggwa. 19  Ogambye nti: ‘Laba! Mpangudde Edomu.’+ Omutima gwo gwegulumizza, era oyagala okugulumizibwa. Sigala mu nnyumba yo.* Lwaki weereetera emitawaana eginaakuviirako okugwa ggwe awamu ne Yuda?” 20  Naye Amaziya teyawuliriza;+ kubanga ekyo kyava eri Katonda ow’amazima abaweeyo mu mukono gw’abalabe baabwe+ olw’okuba baali basinza bakatonda ba Edomu.+ 21  Awo Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri n’agenda, ye ne Kabaka Amaziya owa Yuda ne balwanira e Besu-semesi+ ekya Yuda. 22  Abantu ba Yuda ne bawangulwa Abayisirayiri, ne badduka buli omu n’agenda ewuwe.* 23  Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri n’akwatira Kabaka Amaziya owa Yuda mutabani wa Yekowaasi mutabani wa Yekoyakazi* e Besu-semesi n’amuleeta e Yerusaalemi, n’amenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku Mulyango gwa Efulayimu+ okutuuka ku Mulyango ogw’Oku Nsonda,+ emikono* 400. 24  N’atwala zzaabu yenna ne ffeeza n’ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Katonda ow’amazima ebyali bikuumibwa Obedi-edomu, n’ebyali mu mawanika agaali mu nnyumba* ya kabaka+ era n’awamba abantu, n’addayo e Samaliya. 25  Amaziya+ mutabani wa Yekowaasi kabaka wa Yuda yawangaala emyaka 15 oluvannyuma lw’okufa kwa Yekowaasi+ mutabani wa Yekoyakazi kabaka wa Isirayiri.+ 26  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Amaziya, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n’aba Isirayiri. 27  Okuva Amaziya lwe yakyuka n’aleka Yakuwa, baamukolera olukwe mu Yerusaalemi okumutta,+ n’addukira e Lakisi, naye ne batuma abantu okumuwondera e Lakisi ne bamuttira eyo. 28  Ne bamuteeka ku mbalaasi ne bamuzzaayo ne bamuziika ne bajjajjaabe mu kibuga kya Yuda.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abalondemu.”
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Oba, “tusisinkane maaso ku maaso.”
Oba, “lubiri lwo.”
Obut., “mu weema ze.”
Era ayitibwa Akaziya.
Mita nga 178 (ffuuti 584). Laba Ebyong. B14.
Oba, “lubiri.”