2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 27:1-9

  • Yosamu, kabaka wa Yuda (1-9)

27  Yosamu+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 25, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yerusa muwala wa Zadooki.+  Yakolanga ebirungi mu maaso ga Yakuwa nga kitaawe Uzziya bye yakola,+ naye ye teyayingira we yali tasaanidde kuyingira mu yeekaalu ya Yakuwa.+ Kyokka bo abantu baali bakyeyisa bubi.  Yazimba omulyango ogw’eky’engulu ogw’ennyumba ya Yakuwa,+ era yakola omulimu munene ku bbugwe wa Oferi.+  Yazimba ebibuga+ mu kitundu kya Yuda eky’ensozi,+ era n’azimba ebigo+ n’eminaala+ mu bibira.  Yalwana ne kabaka w’Abaamoni+ era n’abawangula. Mu mwaka ogwo Abaamoni baamuwa ttalanta* za ffeeza 100 ne koro* z’eŋŋaano 10,000 n’eza ssayiri 10,000. Era Abaamoni baamuwa ebintu ebyo ne mu mwaka ogw’okubiri n’ogw’okusatu.+  Bw’atyo Yosamu ne yeeyongera okuba ow’amaanyi, kubanga yali amaliridde okutambulira mu makubo ga Yakuwa Katonda we.  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yosamu, entalo zonna ze yalwana, n’amakubo ge, biwandiikiddwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Isirayiri n’aba Yuda.+  Yatandika okufuga ng’alina emyaka 25, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi.+  Awo Yosamu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi.+ Akazi mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+

Obugambo Obuli Wansi

Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Koro yali egyaamu lita 220. Laba Ebyong. B14.