2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 30:1-27

  • Keezeekiya akwata Okuyitako (1-27)

30  Awo Keezeekiya n’aweereza ab’omu Isirayiri yonna+ ne Yuda obubaka, era n’awandiikira n’ab’omu Efulayimu ne Manase,+ ng’abagamba bajje ku nnyumba ya Yakuwa mu Yerusaalemi bakwate embaga ey’Okuyitako eya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.+  Kabaka n’abaami be n’ekibiina kyonna ekyali mu Yerusaalemi baasalawo okukwata embaga ey’Okuyitako mu mwezi ogw’okubiri,+  kubanga tebaasobola kugikwata mu mwezi ogusooka+ olw’okuba omuwendo gwa bakabona abaali beetukuzza gwali tegumala,+ ate nga n’abantu baali tebakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi.  Enteekateeka eyo n’eba nnungi mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’ekibiina kyonna.  Ne basalawo okulangirira mu Isirayiri yonna, okuva e Beeru-seba okutuuka e Ddaani,+ nti abantu bajje e Yerusaalemi bakwate embaga ey’Okuyitako eya Yakuwa Katonda wa Isirayiri; kubanga baali tebagikwatira wamu ng’ekibiina okusinziira ku biri mu byawandiikibwa.+  Awo ababaka* abaalina amabaluwa okuva eri kabaka n’abaami be ne batalaaga Isirayiri yonna ne Yuda, nga kabaka bwe yali abalagidde, nga bagamba nti: “Mmwe abantu ba Isirayiri, mukomeewo eri Yakuwa Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Isirayiri, naye akomewo eri abo abasigaddewo abaawonawo mu mukono gwa bakabaka ba Bwasuli.+  Temuba nga bajjajjammwe ne baganda bammwe abaakola ebitali bya bwesigwa eri Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe, n’abafuula ekintu eky’entiisa, nga bwe mulaba.+  Kaakano temuba bakakanyavu nga bajjajjammwe.+ Mugondere Yakuwa mujje mu kifo kye ekitukuvu+ kye yatukuza emirembe gyonna, era muweereze Yakuwa Katonda wammwe, obusungu bwe obubuubuuka busobole okubavaako.+  Bwe munaakomawo eri Yakuwa, abo abaawamba baganda bammwe n’abaana bammwe bajja kubasaasira+ babakkirize okudda mu nsi eno,+ kubanga Yakuwa Katonda wammwe wa kisa era musaasizi.+ Tajja kukyuka kubaggyako maaso ge, bwe munaakomawo gy’ali.”+ 10  Ababaka* ne bagenda mu buli kibuga mu nsi yonna eya Efulayimu ne mu Manase+ ne mu Zebbulooni; naye abantu ne babasekerera era ne babajerega.+ 11  Kyokka abantu abamu okuva mu Aseri, ne mu Manase, ne mu Zebbulooni beetoowaza ne bajja e Yerusaalemi.+ 12  Omukisa gwa Katonda ow’amazima era gwali ne ku bantu ba Yuda ne baba bumu bonna mu kugondera ekiragiro kya kabaka n’eky’abaami nga Yakuwa bwe yalagira. 13  Awo abantu bangi nnyo ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ mu mwezi ogw’okubiri.+ Kyali kibiina kinene nnyo! 14  Ne bayimuka ne baggyawo ebyoto ebyali mu Yerusaalemi+ n’ebyoto byonna ebyayoterezebwangako obubaani,+ ne babisuula mu Kiwonvu Kidulooni. 15  Bwe baamala ne batta ensolo ey’embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’okubiri. Bakabona n’Abaleevi baakwatibwa ensonyi ne beetukuza ne baleeta ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Yakuwa. 16  Ne bayimirira mu kifo kyabwe ng’Amateeka ga Musa omusajja wa Katonda ow’amazima bwe gaali galagira. Awo bakabona ne bamansira ku kyoto omusaayi+ Abaleevi gwe baabawa. 17  Waaliwo bangi mu kibiina abaali bateetukuzza, era Abaleevi batta ensolo ez’embaga ey’Okuyitako ku lw’abo bonna abataali balongoofu,+ okusobola okubatukuza mu maaso ga Yakuwa. 18  Abantu bangi nnyo, naddala abo abaava mu Efulayimu ne mu Manase+ ne mu Isakaali ne mu Zebbulooni, baali tebeetukuzza naye ne balya Okuyitako, era nga kino kikontana n’ebyawandiikibwa mu Mateeka. Naye Keezeekiya n’abasabira ng’agamba nti: “Yakuwa omulungi+ asonyiwe 19  buli muntu ateeseteese omutima gwe okunoonya Yakuwa Katonda ow’amazima,+ Katonda wa bajjajjaabe, wadde nga tatukuziddwa ng’omutindo gw’obutukuvu bwe guli.”+ 20  Bw’atyo Yakuwa n’awuliriza Keezeekiya n’asonyiwa* abantu. 21  Awo Abayisirayiri abaali mu Yerusaalemi ne bakwata Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse+ okumala ennaku musanvu nga basanyufu nnyo;+ era Abaleevi ne bakabona baali batendereza Yakuwa buli lunaku, nga bakuba ebivuga byabwe mu ddoboozi erya waggulu okutendereza Yakuwa.+ 22  Ate era Keezeekiya yayogera n’Abaleevi bonna abaali baweereza Yakuwa n’amagezi, n’abazzaamu amaanyi. Ne bamala ennaku musanvu ez’embaga nga balya,+ nga bawaayo ssaddaaka ez’emirembe,+ era nga beebaza Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe. 23  Awo ekibiina kyonna ne kisalawo okukwata embaga eyo okumala ennaku endala musanvu, bwe batyo ne bagikwata okumala ennaku endala musanvu nga basanyuka.+ 24  Keezeekiya kabaka wa Yuda n’awa ekibiina ente ennume 1,000 n’endiga 7,000, ate bo abaami ne bawa ekibiina ente ennume 1,000 n’endiga 10,000+ era bakabona bangi nnyo ne beetukuza.+ 25  Ekibiina kyonna ekya Yuda, ne bakabona, n’Abaleevi, n’ekibiina kyonna ekyava mu Isirayiri,+ n’abagwira+ abaava mu nsi ya Isirayiri n’abo abaali babeera mu Yuda ne beeyongera okusanyuka. 26  Waaliwo essanyu lingi mu Yerusaalemi, kubanga okuva mu nnaku za Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, ekintu ng’ekyo kyali tekibangawo mu Yerusaalemi.+ 27  Awo bakabona Abaleevi ne bayimirira ne basabira abantu omukisa,+ Katonda n’awulira eddoboozi lyabwe, era okusaba kwabwe ne kutuuka mu ggulu, ekifo kye ekitukuvu gy’abeera.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abaddusi.”
Obut., “Abaddusi.”
Obut., “n’awonya.”