2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 32:1-33

  • Sennakeribu atiisatiisa Yerusaalemi (1-8)

  • Sennakeribu anyooma Yakuwa (9-19)

  • Malayika atta eggye lya Bwasuli (20-23)

  • Keezeekiya alwala; afuna amalala (24-26)

  • Ebintu Keezeekiya bye yakola; afa (27-33)

32  Oluvannyuma lw’ebyo, era nga Keezeekiya amaze okulaga obwesigwa ng’obwo,+ Sennakeribu kabaka wa Bwasuli yajja n’alumba Yuda, n’azingiza ebibuga ebyaliko bbugwe ng’ayagala okumenya bbugwe waabyo abiwambe.+  Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze era ng’ayagala okulwanyisa Yerusaalemi,  n’asalawo okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga+ oluvannyuma lw’okwebuuza ku baami be ne ku balwanyi be, era ne bamuyamba.  Awo abantu bangi ne bakuŋŋaanyizibwa ne baziba enzizi zonna n’akagga akaali kayita mu kitundu ekyo, ng’eno bwe bagamba nti: “Lwaki bakabaka ba Bwasuli basanga amazzi mangi nga bazze?”  Era nga mumalirivu, yaddamu n’azimba bbugwe yenna eyali amenyese era n’amuzimbako n’eminaala. N’ebweru wa bbugwe yazimbayo bbugwe omulala. Ate era yaddaabiriza Ekifunvu*+ eky’omu Kibuga kya Dawudi, era n’akola eby’okulwanyisa bingi n’engabo.  Oluvannyuma yalonda abakulu b’amagye okukulembera abantu, n’abakuŋŋaanyiza mu kibangirizi eky’oku mulyango gw’ekibuga, n’abazzaamu amaanyi* ng’agamba nti:  “Mubeere bavumu era mubeere ba maanyi. Temutya era temutekemuka olwa kabaka wa Bwasuli+ n’olw’ekibiina kyonna ekiri naye; kubanga abali naffe bangi okusinga abali naye.+  Ye yeesiga maanyi ga bantu naye ffe twesiga Yakuwa Katonda waffe okutuyamba era n’okulwana entalo zaffe.”+ Awo abantu ne baguma olw’ebigambo bya Keezeekiya kabaka wa Yuda.+  Ebyo bwe byaggwa, Sennakeribu kabaka wa Bwasuli eyali e Lakisi+ n’eggye lye lyonna n’atuma abaweereza be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda n’eri Abayudaaya bonna abaali mu Yerusaalemi,+ ng’agamba nti: 10  “Bw’ati Sennakeribu kabaka wa Bwasuli bw’agamba, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa?+ 11  Keezeekiya tababuzaabuza kubawaayo mufe enjala n’ennyonta ng’abagamba nti: “Yakuwa Katonda waffe ajja kutuwonya mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli.”+ 12  Oyo si ye Keezeekiya eyaggyawo ebifo bya Katonda wammwe ebigulumivu+ n’ebyoto bye+ n’agamba abantu b’omu Yuda ne Yerusaalemi nti: “Mulina kuvunnama mu maaso g’ekyoto kimu, era ku kyo kwe mulina okwokera ssaddaaka zammwe”?+ 13  Temumanyi nze ne bajjajjange kye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala?+ Bakatonda b’amawanga ag’omu nsi endala baasobola okuwonya ensi zaabwe mu mukono gwange?+ 14  Ani ku bakatonda b’amawanga ago bajjajjange ge baazikiriza eyasobola okuwonya abantu be mu mukono gwange, Katonda wammwe alyoke asobole okubawonya mmwe mu mukono gwange?+ 15  Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba oba okubabuzaabuza bw’atyo.+ Temumwesiga, kubanga tewali katonda wa ggwanga lyonna oba bwakabaka bwonna eyasobola okuwonya abantu be mu mukono gwange ne mu mukono gwa bajjajjange. Kati olwo Katonda wammwe y’anaasobola okubawonya mu mukono gwange?’”+ 16  Abaweereza be ne beeyongera okuvuma Yakuwa Katonda ow’amazima n’okuvuma Keezeekiya omuweereza we. 17  Yawandiika n’amabaluwa+ okuvuma Yakuwa Katonda wa Isirayiri+ n’okumwogerako obubi ng’agamba nti: “Okufaananako bakatonda b’amawanga ag’omu nsi endala abataasobola kuwonya bantu baabwe mu mukono gwange,+ ne Katonda wa Keezeekiya tajja kuwonya bantu be mu mukono gwange.” 18  Ne baleekaana mu lulimi lw’Abayudaaya nga boogera eri abantu b’omu Yerusaalemi abaali ku bbugwe okubatiisatiisa n’okubeeraliikiriza, basobole okuwamba ekibuga.+ 19  Ne boogera bubi ku Katonda wa Yerusaalemi mu ngeri y’emu nga bwe baayogera ku bakatonda b’amawanga ag’omu nsi abaakolebwa n’emikono gy’abantu. 20  Naye Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi ne basaba Katonda ali mu ggulu era ne bamukaabirira abayambe olw’ekyo.+ 21  Yakuwa n’atuma malayika n’azikiriza abalwanyi bonna ab’amaanyi,+ abakulembeze, n’abaami abaali mu lusiisira lwa kabaka wa Bwasuli. Awo n’addayo mu nsi ye ng’aswadde. Oluvannyuma yayingira mu nnyumba* ya katonda we era abamu ku batabani be ne bamuttira omwo n’ekitala.+ 22  Bw’atyo Yakuwa n’alokola Keezeekiya n’abantu b’omu Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka wa Bwasuli ne mu mukono gw’abalala bonna, n’abawonya abalabe baabwe ku njuyi zonna. 23  Awo bangi ne baleetera Yakuwa ebirabo e Yerusaalemi ne Keezeekiya kabaka wa Yuda+ ne bamuleetera ebintu ebirungi, era oluvannyuma lw’ekyo amawanga gonna ne gamussaamu ekitiibwa kingi. 24  Mu kiseera ekyo, Keezeekiya yalwala nnyo n’abulako katono okufa; n’asaba Yakuwa+ eyaddamu okusaba kwe era n’amuwa akabonero.+ 25  Naye Keezeekiya teyalaga nti yali asiimye ebirungi byonna ebyamukolerwa, kubanga omutima gwe gwafuna amalala Katonda n’amusunguwalira era n’asunguwalira ne Yuda ne Yerusaalemi. 26  Kyokka Keezeekiya yatoowaza omutima gwe ogwali gufunye amalala+ era n’abantu b’omu Yerusaalemi ne beetoowaza, obusungu bwa Yakuwa ne butababuubuukira mu kiseera kya Keezeekiya.+ 27  Keezeekiya yafuna obugagga bungi nnyo n’ekitiibwa kingi nnyo;+ yazimba amaterekero+ ag’okuterekamu ffeeza ne zzaabu n’amayinja ag’omuwendo n’amafuta ga basamu n’engabo n’ebintu ebirala byonna ebirungi. 28  Era yazimba n’amaterekero ag’emmere ey’empeke n’omwenge omusu n’amafuta, n’ebiyumba by’ensolo ezitali zimu n’ebiyumba by’ebisibo. 29  Yeezimbira ebibuga era n’afuna ebisibo bingi n’amagana mangi, kubanga Katonda yamuwa ebintu bingi nnyo. 30  Keezeekiya ye yaziba omukutu ogw’amazzi+ ga Gikoni ogw’eky’engulu,+ amazzi n’agawugula ne gakulukuta nga gadda ku luuyi olw’ebugwanjuba mu Kibuga kya Dawudi.+ Keezeekiya n’aweebwa omukisa mu buli kintu kye yakola. 31  Naye abaami b’e Babulooni bwe baatuma aboogezi baabwe eri Keezeekiya okumubuuza ebikwata ku kabonero+ akaali kabaddewo mu nsi,+ Katonda ow’amazima yamuleka asobole okumugezesa,+ amanye byonna ebyali mu mutima gwe.+ 32  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Keezeekiya n’ebikolwa bye eby’okwagala okutajjulukuka,+ byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi, mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n’aba Isirayiri.+ 33  Awo Keezeekiya n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika ku kasozi ng’oyambuka okugenda mu kifo awaziikibwa abaana ba Dawudi,+ era abantu b’omu Yuda bonna n’ab’omu Yerusaalemi baamussaamu nnyo ekitiibwa ng’afudde. Manase mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Millo.” Kigambo kya Lwebbulaniya ekitegeeza “okujjuza.”
Obut., “n’ayogera n’omutima gwabwe.”
Oba, “yeekaalu.”