2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 34:1-33
34 Yosiya+ yalina emyaka munaana we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 31 mu Yerusaalemi.+
2 Yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa era n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe; teyakyuka kudda ku ddyo oba ku kkono.
3 Mu mwaka ogw’omunaana ogw’obufuzi bwe, ng’akyali mulenzi muto, yatandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe;+ mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya mu Yuda ne Yerusaalemi+ ebifo ebigulumivu+ n’ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole+ n’ebifaananyi eby’ekyuma.*
4 Ate era baamenyaamenya ebyoto bya Babbaali nga waali alaba. N’atemaatema obutuuti obwabiriko waggulu obwali bwoterezebwako obubaani. Era ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole n’ebifaananyi eby’ekyuma* yabibetenta ne bifuuka enfuufu, n’agimansira ku malaalo g’abo abaawangayo ssaddaaka gye biri.+
5 Era amagumba ga bakabona yagookera ku byoto byabwe,+ bw’atyo n’alongoosa Yuda ne Yerusaalemi.
6 Era mu bibuga bya Manase ne Efulayimu+ ne Simiyoni ne Nafutaali ne mu bifo ebyali bibyetoolodde ebyali byafuuka amatongo,
7 yamenyaamenya ebyoto era n’abetenta ebikondo ebisinzibwa* n’ebifaananyi ebyole+ n’abifuula enfuufu. Era yatemaatema obutuuti bwonna obwali bwoterezebwako obubaani mu nsi ya Isirayiri yonna;+ oluvannyuma n’akomawo e Yerusaalemi.
8 Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwe, ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu,* yatuma Safani+ mutabani wa Azaliya ne Maaseya omukulu w’ekibuga ne Yowa mutabani wa Yowakazi eyawandiikanga ebyabangawo, okuddaabiriza ennyumba ya Yakuwa Katonda we.+
9 Awo ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bamuwa ssente ezaali zireeteddwa mu nnyumba ya Katonda, Abaleevi abakuumi b’oku miryango ze baali bakuŋŋaanyizza okuva mu Manase ne mu Efulayimu ne mu Bayisirayiri abalala,+ n’okuva mu Yuda ne mu Benyamini ne mu bantu b’omu Yerusaalemi.
10 Ne bazikwasa abo abaali balondeddwa okulabirira omulimu ogwali gukolebwa mu nnyumba ya Yakuwa. Abakozi abaali bakola omulimu mu nnyumba ya Yakuwa ne bazikozesa okugiddaabiriza.
11 Baaziwa abakugu mu by’emikono n’abazimbi okugula amayinja amateme, n’embaawo ez’okukolamu ebisiba, n’okugula emiti egy’okuzimbisa amayumba bakabaka ba Yuda ge baali balese ne goonooneka.+
12 Abasajja baakola omulimu n’obwesigwa.+ Era baateekebwako Abaleevi bano: Yakasi ne Obadiya okuva mu Bamerali,+ ne Zekkaliya ne Mesulamu okuva mu Bakokasi,+ okubalabirira. Era Abaleevi nga buli omu mukugu mu kukuba ebivuga,+
13 be baali bakulira abaakolanga emirimu egitali gimu,* era nga be balabirira abo bonna abaali bakola emirimu mu biti eby’enjawulo. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, abalala baali baami, ate abalala baali bakuumi ba ku miryango.+
14 Bwe baali baggyayo ssente ezaali zireeteddwa mu nnyumba ya Yakuwa,+ Kirukiya kabona n’azuula ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa+ agaaweebwa okuyitira* mu Musa. +
15 Kirukiya n’agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde ekitabo ky’Amateeka mu nnyumba ya Yakuwa.” Awo Kirukiya n’akiwa Safani.
16 Safani n’atwala ekitabo eri kabaka era n’amugamba nti: “Abaweereza bo bakola byonna ebyabalagirwa.
17 Ssente ezibadde mu nnyumba ya Yakuwa baziggyeeyo* ne bazikwasa abasajja abaalondebwa era n’abo abakola omulimu.”
18 Ate era Safani omuwandiisi n’agamba kabaka nti: “Waliwo ekitabo Kirukiya kabona ky’ampadde.”+ Awo Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka.+
19 Kabaka olwawulira ebigambo by’Amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.+
20 Awo kabaka n’alagira Kirukiya, ne Akikamu+ mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti:
21 “Mugende mwebuuze ku Yakuwa ku lwange ne ku lw’abo bonna abasigaddewo mu Isirayiri ne mu Yuda ebikwata ku bigambo ebiri mu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Yakuwa obutwolekedde bungi olw’okuba bajjajjaffe tebaakwata bigambo bya Yakuwa okukola byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.”+
22 Awo Kirukiya n’abo kabaka be yalagira ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi,+ mukyala wa Salumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi, eyali alabirira ebyambalo. Kuluda yali abeera mu Yerusaalemi mu Kitundu Ekipya eky’ekibuga; awo ne boogera naye nga bali eyo.+
23 N’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti:
24 “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nja kuleeta akabi ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu;+ nja kuleeta ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo+ kye baasomedde mu maaso ga kabaka wa Yuda.
25 Olw’okuba banvuddeko,+ ne banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala okunnyiiza+ n’ebyo byonna bye bakola n’emikono gyabwe, obusungu bwange bujja kufukibwa ku kifo kino era tebujja kukomezebwa.’”+
26 Naye kabaka wa Yuda abatumye okwebuuza ku Yakuwa mumugambe nti, “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ku bikwata ku bigambo by’owulidde,+
27 olw’okuba omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda bw’owulidde ebigambo bye ebikwata ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange n’oyuza ebyambalo byo era n’okaaba amaziga mu maaso gange, nkuwulidde,+ Yakuwa bw’agamba.
28 Eyo ye nsonga lwaki ojja kugoberera* bajjajjaabo, era ojja kugalamizibwa mu ntaana yo mirembe; amaaso go tegajja kulaba kabi ke ŋŋenda kuleeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.’”’”+
Awo ne bagenda ne babibuulira kabaka.
29 Kabaka n’atuma ne bayita abakadde bonna aba Yuda ne Yerusaalemi.+
30 Oluvannyuma lw’ekyo, kabaka yagenda mu nnyumba ya Yakuwa n’abasajja bonna ab’omu Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi ne bakabona n’Abaleevi—abantu bonna, abakulu n’abato, n’abasomera ebigambo byonna ebyali mu kitabo ky’endagaano ekyazuulibwa mu nnyumba ya Yakuwa.+
31 Kabaka n’ayimirira mu kifo kye n’akola endagaano*+ mu maaso ga Yakuwa nti yali ajja kugobereranga Yakuwa era akwatenga ebiragiro bye, n’okujjukiza kwe, n’amateeka ge n’omutima gwe gwonna n’obulamu bwe bwonna,+ ng’akolera ku bigambo by’endagaano ebyali biwandiikiddwa mu kitabo ekyo.+
32 Ate era yakubiriza abantu bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okuginywererako. Abantu b’omu Yerusaalemi ne bakolera ku ebyo ebyali mu ndagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe.+
33 Oluvannyuma Yosiya yaggyawo ebintu byonna eby’omuzizo* mu nsi y’Abayisirayiri yonna+ era n’alagira bonna mu Isirayiri okuweereza Yakuwa Katonda waabwe. Mu nnaku ze zonna tebaalekera awo kugoberera Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ebisaanuuse.”
^ Oba, “ebisaanuuse.”
^ Obut., “n’ennyumba.”
^ Oba, “abaasitulanga ebintu ebizito.”
^ Obut., “okuyitira mu mukono gwa Musa.”
^ Obut., “baziyiye.”
^ Obut., “nja kukukuŋŋaanyiza eri.”
^ Oba, “n’azza buggya endagaano.”
^ Oba, “ebifaananyi.”