2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 5:1-14

  • Okuteekateeka okutongoza yeekaalu (1-14)

    • Essanduuko ereetebwa mu yeekaalu (2-10)

5  Bw’atyo Sulemaani n’amaliriza omulimu gwonna gwe yalina okukola ku nnyumba ya Yakuwa.+ Awo Sulemaani n’aleeta ebintu kitaawe Dawudi bye yatukuza;+ n’ateeka ffeeza ne zzaabu n’ebintu ebirala byonna mu mawanika g’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima.+  Awo Sulemaani n’akuŋŋaanya abakadde ba Isirayiri, abakulu b’ebika bonna, abaami b’ennyumba za bakitaabwe ba Isirayiri. Bajja e Yerusaalemi okuleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa nga bagiggya mu Kibuga kya Dawudi,+ kwe kugamba, mu Sayuuni.+  Abasajja ba Isirayiri bonna ne bakuŋŋaanira mu maaso ga kabaka ku mbaga* ey’omwezi ogw’omusanvu.+  Awo abakadde ba Isirayiri bonna ne bajja, era Abaleevi ne basitula Essanduuko.+  Ne baleeta Essanduuko ne weema ey’okusisinkaniramu+ n’ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu weema. Bakabona n’Abaleevi* baabireeta.  Kabaka Sulemaani n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri abaali bayitiddwa okumusisinkana baali mu maaso g’Essanduuko. Endiga n’ente zaasaddaakibwa,+ ne kiba nti kyali tekisoboka kumanya muwendo gwazo wadde okuzibala.  Awo bakabona ne baleeta essanduuko y’endagaano ya Yakuwa mu kifo kyayo, mu kisenge ky’ennyumba ekisingayo okuba munda, Awasinga Obutukuvu, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.+  Bakerubi baali banjululizza ebiwaawaatiro byabwe waggulu w’ekifo Essanduuko we yali, ne kiba nti baali babikkiridde Essanduuko n’emisituliro gyayo.+  Naye emisituliro gyali miwanvu nnyo, ng’omuntu ali Awatukuvu mu maaso g’ekisenge ekisingayo okuba munda asobola okulaba emitwe gyagyo, naye ng’ali ebweru tasobola kugiraba; era emisituliro egyo gikyali eyo n’okutuusa leero. 10  Mu Ssanduuko temwalimu kintu kirala kyonna okuggyako ebipande by’amayinja ebibiri Musa bye yateekeramu e Kolebu,+ Yakuwa bwe yakola endagaano+ n’abantu ba Isirayiri bwe baali nga bava e Misiri.+ 11  Bakabona bwe baafuluma mu kifo ekitukuvu (kubanga bakabona bonna abaaliwo, ka babe ba mu kibinja ki,+ baali beetukuzza),+ 12  Abaleevi bonna abayimbi+ abaali aba Asafu,+ aba Kemani,+ aba Yedusuni,+ n’abaana baabwe, ne baganda baabwe, baali bambadde engoye ennungi nga bakutte ebitaasa n’ebivuga eby’enkoba n’entongooli; baali bayimiridde ku luuyi lw’ekyoto olw’ebuvanjuba nga bali wamu ne bakabona 120 abaali bafuuwa amakondeere.+ 13  Abafuuyi b’amakondeere n’abayimbi bwe baakwataganya wamu amaloboozi gaabwe nga batendereza era nga beebaza Yakuwa, era bwe baayimusa amaloboozi g’amakondeere, ag’ebitaasa, n’ag’ebivuga ebirala nga batendereza Yakuwa, “kubanga mulungi; okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe,”+ ennyumba, ennyumba ya Yakuwa n’ejjula ekire.+ 14  Bakabona ne batasobola kweyongera kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Yakuwa kyajjula ennyumba ya Katonda ow’amazima.+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, Embaga ey’Ensiisira.
Oba, “bakabona Abaleevi.”