2 Abakkolinso 9:1-15
9 Ku bikwata ku buweereza* eri abatukuvu,+ tekinneetaagisa na kubawandiikira,
2 kubanga mmanyi nti muli beetegefu, era ekyo kindeetera okubeenyumiririzaamu eri ab’omu Masedoniya, nti ab’e Akaya babadde beetegefu okumala omwaka mulamba era obunyiikivu bwammwe bukubirizza abasinga obungi ku bo.
3 Naye mbatumira ab’oluganda, okwenyumiriza kwe tubeenyumiririzaamu mu nsonga eno kuleme kuba kwa bwereere, naye mubeere beetegefu nga bwe nnagambanga nti muli beetegefu.
4 Bwe kitaabe bwe kityo, ab’e Masedoniya bwe balijja nange ne tubasanga nga temuli beetegefu, ng’ate tubataddemu obwesige, ffe nammwe tuliswala.
5 N’olwekyo, nnalaba nga kyetaagisa okukubiriza ab’oluganda okujja gye muli nga bukyali bategeke ekirabo kye mwasuubiza, kisobole okuba ekirabo ekiweereddwayo mu mwoyo ogw’okugaba, so si lwa kuwalirizibwa.
6 Naye ku bikwata ku nsonga eno, oyo asiga ensigo entono alikungula bitono, n’oyo asiga ensigo ennyingi alikungula bingi.+
7 Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa,+ kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.+
8 Era Katonda asobola okubalaga ekisa eky’ensusso, ne kiba nti bulijjo muba n’ebibamala, awamu n’ebyetaagisa okusobola okukola buli mulimu omulungi.+
9 (Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Agabye nnyo;* awadde abaavu. Obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.”+
10 Kale Oyo awa omusizi ensigo mu bungi n’emmere ey’okulya, ajja kubawa ensigo ez’okusiga era ajja kuzibawa mu bungi era ayaze ebibala byammwe eby’obutuukirivu.)
11 Muweebwa emikisa mu buli kintu musobole okugaba mu bungi, era ekyo kiviirako Katonda okwebazibwa okuyitira mu ffe;
12 kubanga omulimu guno gwe mukoze tegukoma ku kukola ku byetaago bya batukuvu,+ naye era guviirako okwebaza ennyo Katonda.
13 Olw’obujulizi obuweereza buno bwe buwa, bagulumiza Katonda olw’okuba mugondera amawulire amalungi agakwata ku Kristo, nga bwe mwakirangirira mu lujjudde, era olw’okuba mubagabira mu bungi era mugabira bonna.+
14 Era beegayirira ku lwammwe nga balaga nti babaagala nnyo olw’ekisa eky’ensusso Katonda ky’abalaze.
15 Katonda yeebazibwe olw’ekirabo ekitalojjeka kye yatuwa.