2 Bassekabaka 14:1-29
14 Mu mwaka ogw’okubiri ogw’obufuzi bwa Yekowaasi+ mutabani wa Yekoyakazi kabaka wa Isirayiri, Amaziya mutabani wa Yekowaasi kabaka wa Yuda yafuuka kabaka.
2 Amaziya yafuuka kabaka ng’alina emyaka 25, era yafugira emyaka 29 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Yekoyadiini ow’e Yerusaalemi.+
3 Yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, naye teyenkana Dawudi+ jjajjaawe. Yakola byonna nga bwe byali kitaawe Yekowaasi bye yakolanga.+
4 Kyokka ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo,+ era abantu baali bakyaweerayo ssaddaaka era nga bakyanyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebyo.+
5 Olwali okwenywereza ku bwakabaka, n’atta abaweereza be abatta kitaawe Kabaka Yekowaasi.+
6 Naye teyatta baana baabwe, wabula yakola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’Amateeka ga Musa, nga Yakuwa bwe yalagira nti: “Bataata tebattibwenga olw’ebibi by’abaana baabwe, n’abaana tebattibwenga olw’ebibi bya bakitaabwe. Buli omu anattibwanga lwa kibi kye.”+
7 Amaziya yattira mu Kiwonvu ky’Omunnyo+ abasajja Abeedomu+ 10,000 n’awamba ekibuga Seera mu lutalo,+ ekibuga ekyo ne kitandika okuyitibwa Yokuseeri n’okutuusa leero.
8 Awo Amaziya n’atuma ababaka eri Yekowaasi mutabani wa Yekoyakazi mutabani wa Yeeku kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti: “Jjangu tulwane.”*+
9 Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri n’aweereza Kabaka Amaziya owa Yuda obubaka obugamba nti: “Akati ak’amaggwa akaali mu Lebanooni kaaweereza omuti gw’entolokyo ogwali mu Lebanooni obubaka obugamba nti, ‘Muwala wo muwe mutabani wange amuwase.’ Kyokka, ensolo ey’omu nsiko eyali mu Lebanooni n’eyitawo n’erinnyirira akati ak’amaggwa.
10 Kituufu owangudde Edomu,+ era ekyo ne kireetera omutima gwo okwegulumiza. Weenyumiririze mu kitiibwa kyo, naye sigala mu nnyumba yo.* Lwaki weereetera emitawaana eginaakuviirako okugwa ggwe awamu ne Yuda?”
11 Naye Amaziya teyawuliriza.+
Awo Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri n’agenda, ye ne Kabaka Amaziya owa Yuda ne balwanira e Besu-semesi+ ekya Yuda.+
12 Abantu ba Yuda ne bawangulwa Abayisirayiri, ne badduka buli omu n’agenda ewuwe.*
13 Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri n’akwatira Kabaka Amaziya owa Yuda mutabani wa Yekowaasi mutabani wa Akaziya e Besu-semesi n’ajja naye e Yerusaalemi, n’amenya bbugwe wa Yerusaalemi okuva ku Mulyango gwa Efulayimu+ okutuuka ku Mulyango ogw’Oku Nsonda,+ emikono 400.*
14 N’atwala zzaabu yenna ne ffeeza n’ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika agaali mu nnyumba* ya kabaka, era n’awamba abantu, n’addayo e Samaliya.
15 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekowaasi, ebyo byonna bye yakola nga mw’otwalidde n’ebikolwa bye eby’obuzira, ne bwe yalwanyisa Amaziya kabaka wa Yuda, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri.
16 Awo Yekowaasi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Samaliya+ ne bakabaka ba Isirayiri, era Yerobowaamu* mutabani we+ n’amusikira ku bwakabaka.
17 Amaziya+ mutabani wa Yekowaasi kabaka wa Yuda yawangaala emyaka 15 oluvannyuma lw’okufa kwa Yekowaasi mutabani+ wa Yekoyakazi kabaka wa Isirayiri.+
18 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Amaziya biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda.
19 Oluvannyuma lw’ekiseera, baamukolera olukwe+ mu Yerusaalemi n’addukira e Lakisi, naye ne batuma abantu okumuwondera e Lakisi ne bamuttira eyo.
20 Awo ne bamuteeka ku mbalaasi ne bamuzzaayo, n’aziikibwa mu Yerusaalemi ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi.+
21 Oluvannyuma abantu ba Yuda bonna baddira Azaliya*+ eyali ow’emyaka 16,+ ne bamufuula kabaka n’adda mu kifo kya kitaawe Amaziya.+
22 Yaddamu okuzimba Erasi+ n’akiddiza Yuda nga kabaka* amaze okugalamizibwa wamu ne bajjajjaabe.+
23 Mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ogw’obufuzi bwa Amaziya mutabani wa Yekowaasi kabaka wa Yuda, Yerobowaamu+ mutabani wa Kabaka Yekowaasi owa Isirayiri yafuuka kabaka mu Samaliya, era yafugira emyaka 41.
24 Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa. Teyalekayo bibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola.+
25 Yazzaawo ensalo ya Isirayiri okuva e Lebo-kamasi*+ okutuukira ddala ku Nnyanja y’omu Alaba,*+ nga Yakuwa Katonda wa Isirayiri bwe yayogera okuyitira mu muweereza we Yona+ mutabani wa Amitayi, nnabbi ow’e Gasu-keferi.+
26 Kubanga Yakuwa yali alabye ng’Abayisirayiri babonaabona nnyo.+ Waali tewasigaddeewo wadde omuntu ateesobola oba atalina maanyi ow’okuyamba Isirayiri.
27 Kyokka, Yakuwa yali asuubizza obutasaanyaawo linnya lya Isirayiri wansi w’eggulu.+ Bw’atyo n’abanunula ng’akozesa Yerobowaamu mutabani wa Yekowaasi.+
28 Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yerobowaamu, ebyo byonna bye yakola n’ebikolwa bye eby’obuzira, n’entalo ze yalwana, era ne bwe yazza Ddamasiko+ ne Kamasi+ mu buyinza bwa Yuda ne Isirayiri, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri.
29 Awo Yerobowaamu n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, bakabaka ba Isirayiri, era Zekkaliya+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “tusisinkane maaso ku maaso.”
^ Oba, “lubiri lwo.”
^ Obut., “mu weema ye.”
^ Mita nga 178 (ffuuti 584). Laba Ebyong. B14.
^ Oba, “lubiri.”
^ Kwe kugamba, Yerobowaamu ow’okubiri.
^ Litegeeza, “Yakuwa Ayambye.” Ayitibwa Uzziya mu 2Sk 15:13; 2By 26:1-23; Is 6:1; ne Zek 14:5.
^ Kwe kugamba, kitaawe Amaziya.
^ Oba, “awayingirirwa e Kamasi.”
^ Ennyanja ey’Omunnyo, oba Ennyanja Enfu.