2 Bassekabaka 16:1-20

  • Akazi, kabaka wa Yuda (1-6)

  • Akazi agula Abaasuli (7-9)

  • Akazi akoppa ekyoto ky’abasinza ab’obulimba (10-18)

  • Akazi afa (19, 20)

16  Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi+ mutabani wa Kabaka Yosamu owa Yuda yafuuka kabaka.  Akazi yatandika okufuga ng’alina emyaka 20, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi. Teyakola birungi mu maaso ga Yakuwa Katonda we nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.+  Naye yatambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri,+ era yatuuka n’okwokya* mutabani we mu muliro,+ ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga+ Yakuwa ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.  Ate era yawangayo ssaddaaka era n’anyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebigulumivu+ ne ku busozi ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi.+  Awo Kabaka Lezini owa Busuuli ne Peka kabaka wa Isirayiri mutabani wa Lemaliya ne bagenda okulwanyisa Yerusaalemi.+ Baazingiza Akazi, naye tebaasobola kuwamba kibuga.  Mu kiseera ekyo, Kabaka Lezini owa Busuuli yazza Erasi+ mu buyinza bwa Edomu, oluvannyuma n’akigobamu Abayudaaya* abaakirimu, Abeedomu ne bagenda ne bakibeeramu n’okutuusa leero.  Awo Akazi n’atumira Kabaka Tigulasu-pireseri+ owa Bwasuli ababaka ng’agamba nti: “Ndi muweereza wo era mutabani wo. Jjangu onnunule mu mukono gwa kabaka wa Busuuli ne kabaka wa Isirayiri abannumbye.”  Awo Akazi n’addira ffeeza ne zzaabu ebyali mu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika ag’omu nnyumba* ya kabaka, n’abiweereza kabaka wa Bwasuli okumugulirira.+  Kabaka wa Bwasuli yakkiriza kye yali amusabye, n’alumba Ddamasiko n’akiwamba, n’atta kabaka Lezini,+ abantu baamu n’abawaŋŋangusiza e Kiri.+ 10  Awo Kabaka Akazi n’agenda e Ddamasiko okusisinkana Tigulasu-pireseri kabaka wa Bwasuli. Bwe yalaba ekyoto ekyali mu Ddamasiko, n’aweereza Uliya kabona pulaani y’ekyoto ekyo eraga engeri gye kyakolebwamu.+ 11  Uliya+ kabona n’azimba ekyoto+ ng’agoberera obulagirizi bwonna Kabaka Akazi bwe yamuweereza ng’ali e Ddamasiko. Uliya kabona yakimaliriza nga Kabaka Akazi tannakomawo okuva e Ddamasiko. 12  Kabaka bwe yakomawo okuva e Ddamasiko n’alaba ekyoto ekyo, n’agenda we kyali n’akiweerako ebiweebwayo.+ 13  Era yeeyongera okukiweerako ebiweebwayo bye ebyokebwa, n’ebiweebwayo bye eby’emmere ey’empeke; ate era yakiyiwangako n’ebiweebwayo bye eby’eby’okunywa, era n’akimansirangako omusaayi gwa ssaddaaka ze ez’emirembe. 14  Awo n’addira ekyoto eky’ekikomo+ ekyali mu maaso ga Yakuwa n’akiggya mu kifo kyakyo mu maaso g’ennyumba, wakati w’ekyoto kye n’ennyumba ya Yakuwa, n’akiteeka ku luuyi olw’ebukiikakkono olw’ekyoto kye. 15  Awo Kabaka Akazi n’alagira Uliya+ kabona nti: “Ku kyoto ekinene+ kw’onooyokeranga ekiweebwayo ekyokebwa eky’oku makya, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke eky’akawungeezi,+ n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya kabaka, n’ekiweebwayo kye eky’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo ebyokebwa eby’abantu bonna, n’ebiweebwayo byabwe eby’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo byabwe eby’eby’okunywa. Ate era ojja kukimansirangako omusaayi gwonna ogw’ebiweebwayo ebyokebwa era n’omusaayi gwonna ogwa ssaddaaka endala. Naye ekyoto eky’ekikomo nja kulaba eky’okukikolera.” 16  Uliya kabona yakola byonna Kabaka Akazi bye yamulagira.+ 17  Ate era Kabaka Akazi yatemaatema embaati z’ebigaali ez’omu mabbali,+ era n’ebbenseni ezaali ku bigaali ebyo n’aziggyako;+ ttanka* yagiggya ku nte ennume ez’ekikomo+ n’agituuza ku mayinja amaaliire.+ 18  Ekifo ekisereke ekyakozesebwanga ku Ssabbiiti ekyali kizimbiddwa mu nnyumba n’omulyango ogw’ebweru kabaka gwe yayingirirangamu mu nnyumba ya Yakuwa, yabikyusa n’abizza awalala olw’okutya kabaka wa Bwasuli. 19  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Akazi, ebyo bye yakola, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda.+ 20  Awo Akazi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi, Keezeekiya*+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “n’okuyisa.”
Oba, “abantu ba Yuda.”
Oba, “lubiri.”
Obut., “Ennyanja.”
Litegeeza, “Yakuwa awa amaanyi.”