2 Bassekabaka 18:1-37

  • Keezeekiya, kabaka wa Yuda (1-8)

  • Okugwa kwa Isirayiri (9-12)

  • Sennakeribu alumba Yuda (13-18)

  • Labusake asoomooza Yakuwa (19-37)

18  Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Koseya+ mutabani wa Ela kabaka wa Isirayiri, Keezeekiya+ mutabani wa Kabaka Akazi+ owa Yuda, yafuuka kabaka.  Yalina emyaka 25 we yatandikira okufuga, era yafugira emyaka 29 mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Abi* muwala wa Zekkaliya.+  Keezeekiya yakolanga ebirungi mu maaso ga Yakuwa,+ nga jjajjaawe Dawudi bwe yakolanga.+  Ye yaggyawo ebifo ebigulumivu,+ n’amenyaamenya empagi ezisinzibwa, era n’atemaatema n’ekikondo ekisinzibwa.*+ Yabetenta n’omusota ogw’ekikomo Musa gwe yali akoze,+ kubanga n’okutuusa mu kiseera ekyo, abantu b’omu Isirayiri baali bakyagunyookerereza omukka gwa ssaddaaka, era nga guyitibwa ekifaananyi ky’omusota ogw’ekikomo.*  Keezeekiya yeesiga Yakuwa+ Katonda wa Isirayiri; tewali n’omu eyalinga ye mu bakabaka bonna aba Yuda abaamusooka oba abaamuddirira.  Yanywerera ku Yakuwa.+ Yamugonderanga, era yeeyongera okukwata ebiragiro Yakuwa bye yawa Musa.  Yakuwa yali naye. Yayolekanga amagezi mu byonna bye yakolanga. Yajeemera kabaka wa Bwasuli n’agaana okumuweereza.+  Yalwanyisa Abafirisuuti n’abawangula+ okutuukira ddala e Gaaza ne mu bitundu ebikyetoolodde, okuva ku munaala gw’omukuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.*  Mu mwaka ogw’okuna ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, ng’ogwo gwe gwali omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Koseya+ mutabani wa Ela kabaka wa Isirayiri, Kabaka Salumaneseri owa Bwasuli yalumba Samaliya n’akizingiza.+ 10  Baakiwamba+ ku nkomerero y’emyaka esatu; mu mwaka ogw’omukaaga ogw’obufuzi bwa Keezeekiya, nga gwe mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Koseya owa Isirayiri, Samaliya kyawambibwa. 11  Awo kabaka wa Bwasuli n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse+ e Bwasuli n’abateeka e Kala, n’e Kaboli okumpi n’Omugga Gozani, ne mu bibuga by’Abameedi.+ 12  Ekyo kyali bwe kityo olw’okuba tebaawuliriza Yakuwa Katonda waabwe, wabula ne beeyongera okumenya endagaano ye, nga by’ebyo byonna Musa omuweereza wa Yakuwa bye yali abalagidde.+ Tebaawuliriza era tebaagonda. 13  Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa Kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka wa Bwasuli+ yalumba ebibuga bya Yuda byonna ebiriko bbugwe n’abiwamba.+ 14  Awo Kabaka Keezeekiya owa Yuda n’aweereza kabaka wa Bwasuli obubaka e Lakisi, ng’amugamba nti: “Nsobezza. Ndeka. Byonna by’ononsalira nja kubikuwa.” Awo kabaka wa Bwasuli n’asalira Kabaka Keezeekiya owa Yuda ttalanta* 300 eza ffeeza ne ttalanta 30 eza zzaabu. 15  Keezeekiya n’amuwa ffeeza yenna eyali mu nnyumba ya Yakuwa ne mu mawanika g’omu nnyumba* ya kabaka.+ 16  Mu kiseera ekyo Keezeekiya yawangulamu enzigi za yeekaalu+ ya Yakuwa n’emyango ye kennyini gye yali abiseeko zzaabu,+ n’abiwa kabaka wa Bwasuli. 17  Awo kabaka wa Bwasuli n’asindika Talutani* ne Labusalisi* ne Labusake* okuva e Lakisi+ okugenda eri Kabaka Keezeekiya e Yerusaalemi nga balina eggye ddene.+ Baagenda ne batuuka e Yerusaalemi ne bagumba okumpi n’omukutu gw’amazzi ag’ekidiba eky’eky’engulu, oguli ku luguudo olunene olugenda mu kibanja ky’omwozi w’engoye.+ 18  Bwe baakoowoola kabaka afulume, Eriyakimu+ mutabani wa Kirukiya, eyali alabirira ennyumba* ya kabaka, ne Sebuna+ omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu, eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda gye baali. 19  Awo Labusake n’abagamba nti: “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli bw’agamba: “Kiki kye weesiga?+ 20  Ogamba nti, ‘Nnina amagezi n’amaanyi ebinsobozesa okulwana olutalo,’ naye ebyo bigambo bugambo. Kale ani oyo gwe weesiga olyoke onjeemere?+ 21  Laba! Weesize Misiri+ olumuli olubetentefu, olufumita ekibatu ky’omuntu alwesigamako ne lukiyingira. Bw’atyo Falaawo kabaka wa Misiri bw’ali eri abo bonna abamwesiga. 22  Era bwe muŋŋamba nti, ‘Twesiga Yakuwa Katonda waffe,’+ oyo si ye nnannyini bifo ebigulumivu n’ebyoto Keezeekiya bye yaggyawo,+ n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mulina kuvunnama mu maaso ga kyoto kino mu Yerusaalemi’?”’+ 23  Kale kaakano baako ky’osibawo eri mukama wange kabaka wa Bwasuli: Nja kukuwa embalaasi 2,000 tulabe obanga onoosobola okuzifunira abazeebagala abamala.+ 24  Ggwe eyeesiga Misiri okukuwa amagaali n’abeebagazi b’embalaasi, osobola okuwangula wadde omu ku ba gavana asingayo obunafu mu baweereza ba mukama wange? 25  Yakuwa si ye yampa obuyinza okulumba ekifo kino nkizikirize? Yakuwa kennyini ye yaŋŋamba nti, ‘Genda olumbe ensi eyo ogizikirize.’” 26  Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya ne Sebuna+ ne Yowa ne bagamba Labusake+ nti: “Tukwegayiridde, yogera n’abaweereza bo mu Lulamayiki,*+ kubanga tulutegeera; toyogera naffe mu Luyudaaya ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”+ 27  Naye Labusake n’abagamba nti: “Mulowooza ebigambo bino mukama wange antumye kubibuulira mmwe mmwekka ne mukama wammwe? Tantumye kubibuulira n’abasajja abatudde waggulu ku bbugwe, abo abajja okulya empitambi yaabwe era banywe n’omusulo gwabwe nga nammwe bwe mujja okukola?” 28  Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu Luyudaaya n’agamba nti: “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wa Bwasuli.+ 29  Bw’ati kabaka bw’agamba, ‘Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba, kubanga tasobola kubanunula mu mukono gwange.+ 30  Era temukkiriza Keezeekiya kubaleetera kwesiga Yakuwa ng’abagamba nti: “Yakuwa ajja kutununula, era ekibuga kino tekijja kuweebwayo mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli.”+ 31  Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga bw’ati kabaka wa Bwasuli bw’agamba: “Mutabagane nange era mweweeyo gye ndi, awo buli omu ku mmwe ajja kulya ku muzabbibu gwe ne ku mutiini gwe era ajja kunywa amazzi ag’omu luzzi lwe, 32  okutuusa lwe nnajja ne mbatwala mu nsi eringa eyammwe,+ ensi erimu emmere ey’empeke n’omwenge omusu; ensi erimu emigaati n’ennimiro z’emizabbibu, era ensi erimu emizeyituuni n’omubisi gw’enjuki. Mujja kusigala nga muli balamu temujja kufa. Temuwuliriza Keezeekiya, kubanga ababuzaabuza ng’abagamba nti, ‘Yakuwa ajja kutununula.’ 33  Waliwo katonda yenna ku bakatonda b’amawanga asobodde okununula ensi ye mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli? 34  Bakatonda ba Kamasi+ ne Alupadi bali ludda wa? Bakatonda ba Sefavayimu,+ aba Kena, n’aba Yiva bali ludda wa? Baanunula Samaliya mu mukono gwange?+ 35  Ani ku bakatonda bonna ab’ensi ez’enjawulo asobodde okununula ensi ye mu mukono gwange, Yakuwa alyoke asobole okununula Yerusaalemi mu mukono gwange?”’”+ 36  Naye abantu baasirika ne batamuddamu kigambo kyonna, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”+ 37  Naye Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyalabiriranga ennyumba ya* kabaka, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yowa mutabani wa Asafu, eyawandiikanga ebyabangawo, ne bagenda eri Keezeekiya nga bayuzizza ebyambalo byabwe, ne bamubuulira ebyo Labusake bye yali ayogedde.

Obugambo Obuli Wansi

Erinnya Abiya nga lisaliddwako.
Laba Awanny.
Oba, “nga guyitibwa Nekusitani.”
Kwe kugamba, mu buli kifo, ka kibe nga kirimu abantu batono oba bangi.
Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Oba, “lubiri.”
Oba, “omusenero omukulu.”
Oba, “omukungu w’omu lubiri omukulu.”
Oba, “omuduumizi.”
Oba, “olubiri.”
Oba, “Olusuuli.”
Oba, “olubiri lwa.”