2 Bassekabaka 2:1-25

  • Eriya atwalibwa mu mbuyaga (1-18)

    • Erisa afuna ekyambalo kya Eriya (13, 14)

  • Erisa alongoosa amazzi g’omu Yeriko (19-22)

  • Eddubu litta abaana mu Beseri (23-25)

2  Yakuwa bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya+ mu ggulu,* ng’amutwalira mu mbuyaga,+ Eriya ne Erisa+ baava e Girugaali.+  Eriya n’agamba Erisa nti: “Sigala wano, kubanga Yakuwa antumye e Beseri.” Naye Erisa n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne baserengeta e Beseri.+  Awo abaana ba bannabbi* abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti: “Okimanyi nti olwa leero Yakuwa agenda kukuggyako mukama wo amutwale?”+ N’abaddamu nti: “Ekyo nkimanyi. Musirike.”  Awo Eriya n’amugamba nti: “Erisa, sigala wano, kubanga Yakuwa antumye e Yeriko.”+ Naye Erisa n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda e Yeriko.  Abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti: “Okimanyi nti olwa leero Yakuwa agenda kukuggyako mukama wo amutwale?” Erisa n’abaddamu nti: “Ekyo nkimanyi. Musirike.”  Awo Eriya n’agamba Erisa nti: “Sigala wano, kubanga Yakuwa antumye ku Yoludaani.” Naye Erisa n’amuddamu nti: “Nga Yakuwa bw’ali omulamu era nga naawe bw’oli omulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagenda bombi.  Abaana ba bannabbi 50 ne babagoberera, ne bayimirira walako ne batunuulira Eriya ne Erisa nga bayimiridde okumpi ne Yoludaani.  Eriya n’addira ekyambalo kye+ n’akizingamu n’akuba ku mazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku ludda olwa kkono amalala ne gadda ku ludda olwa ddyo, ne basomoka nga bayita awakalu.+  Olwamala okusomoka, Eriya n’agamba Erisa nti: “Nsaba kye mba nkukolera nga sinnakuggibwako.” Erisa n’agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa emigabo ebiri*+ ku mwoyo Katonda gw’akuwadde.”+ 10  Eriya n’amuddamu nti: “Ekintu ky’osabye kizibu nnyo. Bw’onondaba nga nkuggibwako kinaaba bwe kityo; naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11  Bwe baali batambula nga bagenda banyumya, ne wajja eggaali ery’omuliro n’embalaasi ez’omuliro+ ne bibaawula, era Eriya n’atwalibwa embuyaga n’ayambuka mu ggulu.*+ 12  Erisa bwe yakiraba, n’ayogerera waggulu nti: “Kitange, kitange, eggaali lya Isirayiri n’abasajja baayo abeebagala embalaasi!”+ Bwe yali nga takyamulaba, n’akwata ebyambalo bye n’abiyuzaamu ebitundu bibiri.+ 13  Oluvannyuma yaggya wansi ekyambalo+ kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa, n’addayo n’ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani. 14  N’addira ekyambalo kya Eriya ekyali kimuvuddeko ne kigwa n’akuba ku mazzi n’agamba nti: “Aluwa Yakuwa Katonda wa Eriya?” Bwe yakuba ku mazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku ludda olwa kkono amalala ne gadda ku ludda olwa ddyo, Erisa n’asomoka.+ 15  Abaana ba bannabbi ab’e Yeriko bwe baamulengera ne bagamba nti: “Omwoyo gwa Eriya guzze ku Erisa.”+ Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvunnamira, 16  era ne bamugamba nti: “Wano mu baweereza bo waliwo abasajja 50 abalina obusobozi. Ka bagende banoonye mukama wo, oboolyawo omwoyo* gwa Yakuwa gumusitudde ne gumusuula ku lumu ku nsozi oba mu kimu ku biwonvu.”+ Naye n’abaddamu nti: “Temubatuma.” 17  Kyokka ne beeyongera okumwegayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata n’abagamba nti: “Mubatume.” Ne batuma abasajja 50, ne bamunoonyeza ennaku ssatu, naye ne batamulaba. 18  Bwe baakomawo gy’ali, baasanga abeera Yeriko.+ N’abagamba nti: “Saabagamba nti temugenda?” 19  Nga wayiseewo ekiseera, abasajja b’omu kibuga baagamba Erisa nti: “Mukama waffe, ekibuga kino we kiri walungi,+ nga naawe bw’olaba, naye amazzi mabi, n’ensi ŋŋumba.”* 20  N’abagamba nti: “Mundeetere akabakuli akapya mukateekemu omunnyo.” Ne bakamuleetera. 21  N’agenda ku nsulo y’amazzi n’agiyiwamu omunnyo+ n’agamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Amazzi gano ngalongoosezza. Tegakyaddamu kutta bantu wadde okuleetera abakazi okuba abagumba.’”* 22  Okuva ku olwo amazzi ago gaalongooka, nga Erisa bwe yagamba. 23  Awo n’ava eyo n’agenda e Beseri. Bwe yali agenda, abaana ne bava mu kibuga ne bamuvuma+ nga bagamba nti: “Yambuka ggwe ow’ekiwalaata! Yambuka ggwe ow’ekiwalaata!” 24  Awo n’akyuka n’abatunuulira n’abakolimira mu linnya lya Yakuwa. Amalubu abiri+ amakazi ne gava mu kibira, ku baana abo ne gataagulataagulako 42.+ 25  N’ava awo ne yeeyongerayo ku Lusozi Kalumeeri,+ era bwe yava eyo n’addayo e Samaliya.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “mu bbanga.”
Kirabika “abaana ba bannabbi” kitegeeza essomero lya bannabbi oba ekibiina kya bannabbi.
Oba, “ebitundu bibiri.”
Oba, “mu bbanga.”
Oba, “empewo.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ereetera abakazi okuvaamu embuto.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “okuvaamu embuto.”